創世記 48
Revised Chinese Union Version (Traditional Script) Shen Edition
雅各祝福約瑟的兩個兒子
48 這些事以後,有人告訴約瑟說:「看哪,你的父親病了。」他就帶着兩個兒子瑪拿西和以法蓮同去。 2 有人告訴雅各說:「看哪,你的兒子約瑟到你這裏來了。」以色列就勉強在床上坐起來。 3 雅各對約瑟說:「全能的 神曾在迦南地的路斯向我顯現,賜福給我, 4 對我說:『看哪,我必使你生養眾多,成為許多民族,又要將這地賜給你的後裔,永遠為業。』 5 我未到埃及你那裏之前,你在埃及地所生的以法蓮和瑪拿西這兩個兒子,現在他們是我的,正如呂便和西緬是我的一樣。 6 你在他們以後所生的後裔就是你的,這些後裔可以在自己兄弟的名下得產業。 7 至於我,我從巴旦回來的時候,拉結在我身旁死了,就是在往迦南地的路上,離以法他還有一段路程。我就把她葬在往以法他的路旁;以法他就是伯利恆。」
8 以色列看見約瑟的兒子,就說:「這些是誰?」 9 約瑟對他父親說:「這是 神在這裏賜給我的兒子。」以色列說:「領他們到我跟前,我要為他們祝福。」 10 以色列年紀老邁,眼睛昏花,不能看見。約瑟領他們到他跟前,他就和他們親吻,抱着他們。 11 以色列對約瑟說:「我沒有想到能夠見你的面。看哪, 神還讓我看見你的兒子。」 12 約瑟把他們從以色列兩膝中間領出來,自己臉伏於地下拜。 13 然後,約瑟牽着他們兩個,帶到父親跟前,右手牽以法蓮到以色列的左邊,左手牽瑪拿西到以色列的右邊。 14 以色列卻伸出右手來,按在次子以法蓮的頭上,又交叉伸出左手來,按在長子瑪拿西的頭上。 15 他就為約瑟祝福說:
「願我祖父亞伯拉罕和我父親以撒所事奉的 神,
就是一生牧養我直到今日的 神,
16 救贖我脫離一切患難的那位使者,賜福給這兩個孩子。
願我的名,我祖父亞伯拉罕和我父親以撒的名藉着他們得以流傳。
又願他們在全地上多多繁衍。」
17 約瑟見父親把右手按在以法蓮的頭上,他看為不好,就提起他父親的手,要從以法蓮的頭上移到瑪拿西的頭上。 18 約瑟對父親說:「我父,不是這樣。這個才是長子,請你把右手按在他頭上。」 19 他父親卻不肯,說:「我知道,我兒,我知道。他也要成為一族,也要強大。可是他的弟弟將來比他還要強大;他弟弟的後裔要成為許多國家。」 20 以色列就在當日為他們祝福,說:「以色列人要指着你們祝福,說:『願 神使你如以法蓮、瑪拿西一樣。』」於是他立以法蓮在瑪拿西之上。 21 以色列又對約瑟說:「看哪,我快要死了,但 神必與你們同在,領你們回到你們祖先之地。 22 從前我用刀用弓從亞摩利人手下奪取的那一份,我要把它賜給你,使你比你的兄弟多得一份[a]。」
Footnotes
- 48.22 「比你的兄弟多得一份」或譯「使你擁有示劍城,超過你的兄弟」。
Olubereberye 48
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yakobo Asabira Batabani ba Yusufu Omukisa
48 (A)Oluvannyuma Yusufu n’ategeezebwa nti, “Laba, kitaawo mulwadde.” Bw’atyo n’atwala batabani be Manase ne Efulayimu; 2 Yakobo n’ategeezebwa nti, “Mutabani wo azze okukulaba.”
Awo Yakobo ne yeekakaba ku kitanda kye n’atuula. 3 (B)N’agamba Yusufu nti, “Katonda Ayinzabyonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani n’ampa omukisa. 4 (C)N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’
5 (D)“Kale kaakano batabani bo bombi abaakuzaalirwa mu Misiri nga sinnajja, bange; Efulayimu ne Manase baliba bange nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali. 6 N’abo abaakuzaalirwa oluvannyuma lwabwe baliba babo, banaayitibwa amannya ga baganda baabwe mu mugabo gwabwe. 7 (E)Kubanga bwe najja ng’ava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri n’anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.”
8 Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?”
9 (F)Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.”
N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”
10 (G)Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.
11 (H)Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”
12 Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi. 13 (I)Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza. 14 (J)Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.
15 (K)N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,
“Katonda wa jjajjange
Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,
Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna
okutuusa leero,
16 (L)Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,
owe omukisa abalenzi bano.
Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo
era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.
Era bafuuke ekibiina ekinene
mu maaso g’ensi.”
17 (M)Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18 N’agamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.”
19 (N)Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.” 20 (O)Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti,
“Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti,
‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ”
Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase.
21 (P)Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo. 22 (Q)Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”
和合本修訂版經文 © 2006, 2010, 2017 香港聖經公會。蒙允許使用。 Scripture Text of Revised Chinese Union Version © 2006, 2010, 2017 Hong Kong Bible Society. www.hkbs.org.hk/en/ Used by permission.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.