列王纪上 7
Chinese Contemporary Bible (Simplified)
所罗门的王宫
7 所罗门用了十三年的时间为自己兴建王宫。 2 他建造的黎巴嫩林宫长四十五米,宽二十二米半,高十三米半,有三行香柏木柱,柱子支撑着香柏木横梁。 3 每一行木柱有十五根,共四十五根。殿顶铺香柏木板。 4 宫殿有三排窗户,窗与窗相对; 5 宫殿的门框和窗户都是方形的,三排窗户彼此相对。
6 他又建了一座有柱子的廊子,长二十二米半,宽十三米半,前面还有带柱子的门廊和篷子。 7 此外,他又建造了一个判案的公堂。堂内从地板到天花板都铺上了香柏木。 8 所罗门的寝宫就在公堂后面的院内,建筑样式和公堂相同。所罗门又为妻子——法老的女儿造了一座类似的宫室。
9 这些宫殿,从根基到墙顶,从外院到内殿用的都是上等的石头,按规格里外用锯切割整齐。 10 根基用的是非常珍贵的石头,它们的体积巨大,有些甚至是长达三米半至四米半的巨石, 11 上面是按照规格凿好的上等石头以及香柏木。 12 大院周围的墙由三层凿好的石头和一层香柏木建成,正如耶和华殿的内院和殿廊的墙。
户兰造圣殿的器具
13 所罗门王派人从泰尔把户兰召来。 14 户兰是拿弗他利支派一个寡妇的儿子,父亲是泰尔的铜匠。户兰聪明伶俐,技术高超,擅长制造各种铜器。他前来朝见所罗门王,领命负责一切铜器工程。
15 他铸造了两根铜柱,每根高八米,周长五点四米, 16 然后用铜铸造了两个高二点二五米的柱冠,安在柱顶上。 17 每一个柱冠上装饰着七条链子织成的网, 18 网周围环绕着两行石榴。 19 门廊的柱冠高一点八米,形状像百合花。 20 在每个柱冠靠近网子鼓起来的地方围着两行石榴,共二百个。 21 这两根铜柱竖立在殿廊的入口,南边那根称为雅斤,北边那根称为波阿斯。 22 柱冠的形状像百合花。这样,铜柱就造成了。
23 他又铸造了一个圆形的铜海,高二点二五米,直径四点五米,周长十三点五米。 24 在铜海的边缘下围绕着两圈野瓜图案,每米有二十个野瓜,是跟铜海一起铸造的。 25 有十二头铜牛驮着铜海,三头向北,三头向西,三头向南,三头向东。铜海安在牛上,牛尾都向内。 26 铜海厚八厘米,边如杯边,又如百合花,容量是四万四千升。 27 户兰用铜造了十个盆座,每个长一点八米,宽一点八米,高一点三五米。 28 盆座四面装上镶板,镶板固定在框架上。 29 镶板和框架上刻着狮子、牛和基路伯天使,狮子和牛的上面和下面雕刻着花环。 30 每一个盆座都有四个铜轮和铜轴,盆放在有四个支脚铸成的盆架上,盆架周围有花环图案。 31 盆座的开口呈圆形,深四十五厘米,直径七十厘米,开口周围有雕刻。镶板是方形的,不是圆形的, 32 下面有四个七十厘米高的轮子,轮轴固定在盆座上。 33 轮子的样式像战车的轮子,轴、辋、辐、毂都是铸成的。 34 每个盆座的四角都有支脚,支脚和盆座一起铸成。 35 盆座上有一个高二十三厘米的圆架,上面的支架和镶板是和盆座一起铸成的。 36 支架和镶板都刻上基路伯天使、狮子和棕树的图案,周围有花环图案。 37 十个盆座的铸法、大小和形状相同。 38 他又用铜制造了十个盆,盆径一点八米,容量八百八十升。十个铜盆分别放在十个盆座上。 39 殿门左右各放五个盆座。铜海放在殿的东南角。
40 他又制造了其他的盆、铲和碗。他为所罗门王完成了耶和华殿的一切工作。 41 他所制造的有两根柱子,两个碗状的柱冠,两个装饰柱冠的网子, 42 四百个装饰网子的石榴,每个网子上两行石榴,装饰碗状的柱冠; 43 十个盆座及盆座上的十个铜盆; 44 铜海和铜海下面的十二头铜牛; 45 盆、铲、碗。这些都是户兰用磨亮的铜为耶和华的殿造的器具。 46 这些都是照王的命令在疏割和撒拉但之间的约旦平原用泥模铸成的。 47 所罗门没有秤过这些器具,因为太多,铜的重量无法统计。
48 所罗门又为耶和华的殿造了以下器具:金坛、放供饼的金桌; 49 至圣所前面的纯金灯台,左右各五个;灯台上的金花、灯盏和蜡剪; 50 纯金造的杯、蜡剪、碗、碟和火鼎以及至圣所和外殿入口的金门枢。
51 所罗门王完成耶和华殿的一切工作后,就把他父亲大卫献给耶和华的金银和器具都搬进耶和华殿的库房。
1 Bassekabaka 7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Sulemaani Azimba Olubiri lwe
7 (A)Sulemaani kyamutwalira ebbanga lya myaka kkumi n’esatu okuzimba olubiri lwe. 2 (B)N’azimba olubiri nga luli ng’Ekibira kya Lebanooni[a], obuwanvu mita amakumi ana mu mukaaga, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, nga luwaniriddwa ku mpagi nnya ez’emivule. 3 Ne luserekebwa n’emivule ku mikiikiro amakumi ana mu etaano, buli lunyiriri nga lulimu kkumi na ttaano. 4 Waaliwo amadirisa agaateekebwa mu nnyiriri ssatu, buli limu nga litunuulidde linnaalyo. 5 Buli mulyango gwalina omwango nga gwa nsonda nnya, era nga gitunuuliraganye mu nnyiriri ssatu.
6 N’azimba ekisenge ekinene eky’empagi obuwanvu mita amakumi abiri mu ssatu n’obugazi mita kkumi na ssatu n’ekitundu. Mu maaso gaakyo waaliwo ekisasi, ekyali kiwaniriddwa empagi ez’emiti.
7 (C)Yazimba n’ekisenge ekinene omwali entebe ey’obwakabaka, nga kye kisenge mwe yasaliranga emisango, era nga kyonna ky’ateekebwamu emivule okuva wansi okutuuka waggulu. 8 (D)Olubiri lwe yali agenda okubeeramu olwali emanju w’ekisenge ekinene lwali lukifaanana. N’azimbira ne muwala wa Falaawo, gwe yali awasizza, olulufaanana.
9 Okuva ku musingi okutuuka waggulu, ebizimbe ebyo byonna n’oluggya olunene, byazimbibwa n’amayinja agaagerebwa ne gasalibwa n’emisumeeno, mu bigera byago. 10 Omusingi gw’azimbibwa n’amayinja amanene amalungi, agamu ng’obuwanvu genkana mita nnya n’ekitundu n’amalala ng’obuwanvu genkana mita ssatu n’obutundu mukaaga. 11 Waggulu okumpi n’akasolya waaliyo amayinja ag’omuwendo omungi, agatemebwa nga bwe gaagerebwa, n’emiti egy’emivule. 12 (E)Oluggya olunene lwali lwetooloddwa bbugwe ow’embu ssatu ez’amayinja amateme, n’olubu olumu nga lwa miti egy’emivule, ng’ekisasi eky’omu maaso n’oluggya olw’omunda olwa yeekaalu bwe byali bizimbiddwa.
Ebintu bya Yeekaalu
13 (F)Kabaka Sulemaani n’atumya Kiramu ow’e Ttuulo, eyali mutabani wa nnamwandu ow’omu kika kya Nafutaali. 14 (G)Kitaawe yali musajja w’e Ttuulo nga muweesi wa bikomo. Kiramu yali musajja mugezi, mumanyirivu nnyo era ng’ategeera emirimu egy’ebyebikomo egya buli ngeri. N’agenda eri Kabaka Sulemaani, n’akola emirimu gyonna egya muweebwa. 15 (H)Kiramu n’akola empagi bbiri ez’ekikomo, buli emu obuwanvu mita munaana n’akatundu kamu, n’okwetooloola buli emu mita ttaano n’obutundu buna. 16 (I)Waggulu wa buli mpagi n’assaako ebitikkiro ebyalina ebitimba eby’omulimu ogw’ekikomo, n’emigo egy’omulimu ogw’emikuufu egyalukibwa. 17 N’akola empagi zombi n’ebitikkiro byakwo nga zitimbiddwa buli emu ng’erina ebiruke ng’amalanga ag’amakomamawanga, musanvu. 18 Ebitikkiro ebyali ku mpagi ez’olubalaza zakolebwa ng’amalanga ag’ebimuli eby’amakomamawanga. 19 Ebitikkiro eby’empagi byali ng’amalanga nga ziri mita emu n’obutundu munaana obugulumivu. 20 (J)Ku buli nkufiira ey’empagi kwaliko ekifaanana ng’ebakuli okuliraana n’omulimu ogufaanana ng’ekintu ekiruke, era waaliwo amakomamawanga ebikumi bibiri mu mbu okwetooloola ebitikkiro ebyo. 21 (K)N’akola empagi bbiri ku lubalaza lwa yeekaalu, emu n’agizimba ku luuyi olw’obukiikaddyo n’agituuma Yakini, n’eyokubiri n’agizimba ku luuyi olw’obukiikakkono n’agituuma Bowaazi. 22 Ebitikkiro byabyo byakolebwako ebimuli eby’amalanga, era bwe gutyo omulimu ogw’okuzimba empagi ne guggwa.
23 (L)N’akola ttanka[b] ennene ey’ekikomo ekisaanuuse, nga neekulungirivu ng’eri mita nnya n’ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, ne mita bbiri n’obutundu busatu obugulumivu. Obwekulungirivu bwali mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 24 Wansi w’omugo gwayo kwaliko entaabwa okugyetooloola, kkumi buli butundu busatu obwa mita, era nga ziri embu bbiri, ezasaanuusibwa nayo.
25 (M)Ettanka ennene yatuulanga ku bifaananyi by’ente ennume kkumi na bbiri, esatu nga zitunudde mu bukiikakkono, n’endala essatu nga zitunudde ebugwanjuba, n’endala essatu nga zitunudde mu bukiikaddyo, n’endala essatu nga zitunudde ebuvanjuba, era ng’ebitundu byabyo eby’emabega nga bitunuuliraganye mu masekkati gaayo. 26 Obugazi bwayo yali oluta lumu, n’omugo gwayo gwakolebwa ng’omugo gw’ekibya, ng’ekimuli ky’amalanga. Yajjulanga lita emitwalo ena mu enkumi nnya.
27 (N)N’akola n’ebitebe ebiseetulwa, mu bikomo buli kimu obuwanvu bwakyo mita emu n’obutundu munaana, n’obugazi bwe bumu, ate obugulumivu mita emu n’obutundu busatu. 28 Ebitebe ebyo by’akolebwa bwe biti: byalina enkulukumbi mu myango gyabyo. 29 Ku nkulukumbi wakati mu myango mwalimu ebifaananyi bya bakerubi n’eby’empologoma, n’eby’ente ennume; kwaliko n’ebintu ebireebeeta ebyakolebwa n’emikono. 30 (O)Buli kitebe ky’alina nnamuziga nnya ez’ebikomo, n’entobo za nnamuziga nga za bikomo, era nga buli kimu kirina ebensani ewaniriddwa mu nsonda nnya n’emisituliro egyasaanuusibwa, nga ku buli musituliro kuliko ebireebeeta. 31 Ekitebe ekimu kyalina akamwa akalina omwango omwekulungirivu ogwali kitundu kya mita mu kukka. Akamwa kaagwo kaali keekulungirivu n’omulimu ogwa wansi kwe kyaterezebwanga, nga gwa butundu musanvu obwa mita mu kukka. Ku kamwa kaagwo kwaliko enjola, n’enkulumbi zaakyo nga si nnekulungirivu naye ng’enjuyi zonna zenkanankana. 32 Nnamuziga ennya zaali wansi w’enkulumbi; n’emisingi gya nnamuziga gyali gikomereddwa ku kitebe. Okusala mu bukiika bwa nnamuziga emu bwali obutundu musanvu obwa mita. 33 Nnamuziga zaakolebwa nga nnamuziga ez’amagaali, era kwaliko emisingi, n’empanka, n’empagi, n’emisumaali nga byonna by’akolebwa mu kyuma ekisaanuuse.
34 Kwaliko emisituliro ena ku nsonda ennya eza buli kitebe era gyonna nga gya kika kyekimu n’ekitebe. 35 Ku ntikko eya buli kitebe kwaliko engeri ey’ekikoba ekyekulungirivu; okukka kwakyo obutundu bubiri obwa mita, n’embiriizi zaakyo n’enkulukumbi ebyagiwaniriranga, byakwatagananga ku ntikko. 36 Ku biwanirira ne ku nkulukumbi, Kiramu yakolako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’eby’empologoma, n’eby’enkindu mu buli kifo omwali ebbanga, era n’ayolako ebimuli okwetooloola. 37 Bw’atyo bwe yakola ebitebe ekkumi. Byonna yabikola mu kyuma ekisaanuuse kyekimu, era n’abikola byonna nga bya kigero kyekimu, n’okufaanana nga bifaanana.
38 (P)N’alyoka akola amabensani kkumi, nga ga kikomo, buli emu ng’egyamu lita lunaana mu kinaana, era buli emu nga yenkana mita emu ne desimoolo munaana obugazi, ate buli bensani ng’etuula ku kitebe kyayo. 39 N’addira ebitebe bitaano ku byo n’abiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa yeekaalu, n’ebitaano ebirala ku luuyi olw’obukiikakkono; n’ateeka Ennyanja ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ebuvanjuba obwa yeekaalu. 40 N’akola n’ensuwa, n’amabensani, n’ebijiiko, n’amabensani ag’okumansira.
Bw’atyo Kiramu n’amaliriza omulimu gwa yeekaalu ya Mukama gwonna gwe yakolera Kabaka Sulemaani.
41 Empagi ebbiri zombi;
ebitikkiro byombi eby’ebibya ebyayolebwa waggulu ku mpagi;
embu ebbiri ez’ebitimbe ebyali ku bitikkiro byombi eby’empagi;
42 (Q)n’ebitone ebikumi ebina eby’amakomamawanga ebyali mu mbu ebbiri, ebyali bibikka ku nkufiira ez’empagi;
43 ebitebe ekkumi n’amabensani gaakwo agaabituulangako kkumi;
44 ettanka ennene n’ebifaananyi eby’ente ennume ekkumi n’ebbiri ebyali wansi w’ettanka ennene;
45 (R)n’ensuwa, n’ebisena, n’amabensani agamansira.
Ebintu byonna Kulamu bye yakolera Kabaka Sulemaani ku lwa yeekaalu ya Mukama byali bya bikomo bizigule. 46 (S)Kabaka yalagira babisaanuusize mu lusenyi lwa Yoludaani awali ettaka ery’ebbumba wakati w’e Sukkosi n’e Zalesani. 47 (T)Sulemaani teyapima bintu ebyo byonna, kubanga byali biyitiridde obungi; era tewali yapima buzito obw’ekikomo ebintu mwe byakolebwa.
48 (U)Awo Sulemaani n’akozesa n’ebintu ebirala byonna ebyateekebwa mu yeekaalu ya Mukama:
ekyoto ekya zaabu;
emmeeza eya zaabu okwaberanga emigaati egy’okulaga;
49 (V)ebikondo by’ettaala[c] ebya zaabu ennongoose, bitaano ku luuyi olwa ddyo n’ebitaano ku luuyi olwa kkono, byonna awamu kkumi, mu kifo awaayimirirwanga okwogera;
obusumbi bw’ebimuli; ettabaaza ne makansi nga bya zaabu;
50 (W)bbensani, ne makansi ezisala ebisirinza, ne bbakuli ezifukirira, n’ebibya ne fulampeni, nga bya zaabu ennongoose;
eminyolo gy’enzigi egy’ekisenge eky’omunda ddala, kye Kifo Ekitukuvu Ennyo nga gya zaabu, n’egy’enzigi ez’ekisenge ekinene ddala ekya yeekaalu nga gya zaabu.
51 (X)Omulimu gwonna Kabaka Sulemaani gwe yakola ku yeekaalu ya Mukama bwe gwaggwa, n’aleeta ebintu Dawudi kitaawe bye yayawulirako Mukama, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama.
Footnotes
- 7:2 Olubiri lwa Sulemaani lwayitibwa Ekibira kya Lebanooni olw’empagi z’emivule ezaali zizimbiddwamu nga zitegekeddwa ng’emiti egisangibwa mu kibira. Emivule gyavanga Lebanooni
- 7:23 Bakabona baanaabanga engalo n’ebigere nga bakozesa amazzi agali mu ttanka ennene ey’ekikomo ekisaanuuse, bwe baabanga tebannawaayo biweebwayo ebyokebwa (Kuv 30:17-21)
- 7:49 Mu Weema ya Mukama mwalimu ekikondo ky’ettaala kimu kyokka nga kirina amatabi musanvu, (Kuv 25:31-40; 26:35). Mu kifo kyayo, Sulemaani yassaawo ebikondo kkumi eby’ettaala
Chinese Contemporary Bible Copyright © 1979, 2005, 2007, 2011 by Biblica® Used by permission. All rights reserved worldwide.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.