Isaaya 25:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Mu biro ebyo balyogera nti,
“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
Kaabakuuku 3:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)kyokka ndijaguliza Mukama,
ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.
Zabbuli 132:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.
Isaaya 52:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Katonda Alizzaawo Yerusaalemi
52 (A)Zuukuka, zuukuka,
oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
Isaaya 49:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.
Okubikkulirwa 21:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.