2 Samwiri 14:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Yowaabu n’atumya omukazi omugezigezi okuva e Tekowa, n’amugamba nti, “Weefuule akungubaga, oyambale engoye ez’okukungubaga, teweesiiga mafuta, obeere ng’omukyala amaze ennaku ennyingi ng’akungubagira omufu.
Read full chapter
Zekkaliya 14:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Nammwe muliddukira mu kkubo ery’omu kiwonvu eky’olusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo Mukama Katonda wange alijja n’abatukuvu be bonna.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 26:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye.
Read full chapter
2 Bassekabaka 14:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yerobowaamu II Kabaka wa Isirayiri
23 (A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Isirayiri n’afuuka kabaka mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi ana mu gumu.
Read full chapter
Koseya 1:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
1 (A)Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, n’ogwa Yosamu, n’ogwa Akazi n’ogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.