Zabbuli 21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
21 (A)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!
2 (B)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
3 (C)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
4 (D)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
5 (E)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
6 (F)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
kabaka tagenda kunyeenyezebwa.
8 (G)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
9 (H)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
era alibamalirawo ddala.
10 (I)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (J)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (K)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.
13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.