Add parallel Print Page Options

Okwolesebwa kwa Nnabbi Ku Kabona Asinga Obukulu

(A)Awo n’anjolesa Yoswa, kabona asinga obukulu, ng’ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng’ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo okumulumiriza. (B)Mukama n’agamba Setaani nti, “Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?” Awo Yoswa yali ayimiridde mu maaso ga malayika ng’ayambadde ebyambalo ebijjudde ekko. (C)Malayika n’agamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.”

N’agamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo eby’omuwendo.”

(D)Ne njogera nti, “Mumusibe ekiremba ekitukula ku mutwe gwe.” Awo ne bamusiba ekiremba ekitukula ku mutwe, ne bamwambaza n’engoye, nga malayika wa Mukama ayimiridde awo.

Malayika wa Mukama n’akuutira nnyo Yoswa ng’ayogera nti, (E)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Bw’onootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.

(F)“ ‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kw’otegeerera eby’omu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi. (G)Kubanga laba, ku jjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa, ku jjinja erimu eririna amaaso omusanvu, laba nditeekako ebiwandiiko,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Mu lunaku lumu ndiggyawo ekibi ky’ensi eno.

10 (H)“ ‘Ku lunaku luli, buli omu ku mmwe, aliyita muliraanwa we okutuulako wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”