Zekkaliya 3:6-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 Malayika wa Mukama n’akuutira nnyo Yoswa ng’ayogera nti, 7 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Bw’onootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.
8 (B)“ ‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kw’otegeerera eby’omu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.