Add parallel Print Page Options

(A)Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira?

“Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘Mukama ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ”

Read full chapter

11 (A)bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri;
    tekiriddayo bwereere,
naye kirikola ekyo kye njagala
    era kirituukiriza ekyo kye nakituma.

Read full chapter

18 (A)Ddala ddala mbagamba nti Eggulu n’ensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira.

Read full chapter

Isirayiri Azzibwawo

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira,
    ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba.
Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu,
    muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,
(B)nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’
    n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’

“Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo,
    ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.
10 (C)Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta,
    ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya.
Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera,
    anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.
11 (D)Era ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo
    era enguudo zange ennene zirigulumizibwa.
12 (E)Laba, abantu bange balidda okuva ewala,
    abamu, baliva mu bukiikakkono
    n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”

13 (F)Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi.
    Muyimbe mmwe ensozi!
    Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.

14 Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese,
    era Mukama wange anneerabidde.”

15 (G)“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
    n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
    naye nze sirikwerabira.
16 (H)Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
    ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 (I)Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
    era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 (J)Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
    Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
    balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
    ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.

19 (K)“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
    kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
    banaakubeeranga wala.
20 (L)Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
    lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
    tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 (M)N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
    ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
    Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
    Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
    naye ate bano, baava wa?’ ”

Read full chapter