Add parallel Print Page Options

40 (A)Mukama abayamba n’abalokola;
    abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,
    kubanga gy’ali gye baddukira.

Read full chapter

44 “Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe gy’onoobasindikanga ne basaba Mukama nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo,

Read full chapter

14 (A)Laba Yuda bwe baakyuka ne balaba nga balumbiddwa okuva mu maaso n’emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakondeere.

Read full chapter

11 (A)Awo Asa n’akoowoola Mukama Katonda we ng’agamba nti, “Mukama, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa ab’amaanyi. Tuyambe Ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi Mukama, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.”

Read full chapter

(A)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
    naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
(B)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
    naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
(C)Ayi Mukama, lokola kabaka,
    otwanukule bwe tukukoowoola.

Read full chapter

(A)Baakukoowoolanga n’obalokola;
    era baakwesiganga ne batajulirira.

Read full chapter

Zabbuli ya Dawudi.

26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
    kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
    nga sibuusabuusa.

Read full chapter

23 (A)Kabaka n’asanyuka nnyo n’alagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri n’aggyibwa mu mpuku, n’atasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.

Read full chapter