A A A A A
Bible Book List

Yobu 20 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Zofali Addamu

20 Awo Zofali Omunaamasi n’amuddamu nti,

“Ebirowoozo byange ebiteganyiziddwa binkubiriza okukuddamu
    kubanga nteganyizibbwa nnyo.
Mpulidde nga nswadde olw’okunenya,
    okutegeera kwange kunkubiriza okuddamu.

“Ddala omanyi nga bwe byali okuva edda,
    okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,
nti Enseko z’omwonoonyi ziba z’akaseera katono,
    era n’essanyu ly’abatamanyi Katonda terirwawo.
Newaakubadde ng’amalala ge gatuuka ku ggulu
    n’omutwe gwe ne gutuuka ku bire,
alizikirira emirembe n’emirembe nga empitambi ye:
    abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’
Abulawo ng’ekirooto, n’ataddayo kulabika;
    abuzeewo ng’okwolesebwa kw’ekiro.
Eriiso eryamulaba teririddayo kumulaba,
    taliddayo kulaba kifo kye nate.
10 Abaana be basaana bakolagane n’abaavu,
    emikono gye gyennyini gye gisaana okuwaayo obugagga bwe.
11 Amaanyi ag’ekivubuka agajjudde amagumba ge,
    ge ganaagalamiranga naye mu nfuufu.

12 “Okukola ebibi kuwoomerera mu kamwa ke
    era akukweka wansi w’olulimi lwe,
13 tayagala kukuleka,
    wadde okukuta era akukuumira mu kamwa ke.
14 Naye emmere ye erimwonoonekera mu byenda,
    era erifuuka butwa bwa nsweera munda ye.
15 Aliwandula eby’obugagga bye yamira;
    Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema.
16 Alinywa obutwa bw’ensweera;
    amannyo g’essalambwa galimutta.
17 Alisubwa obugga,
    n’emigga egikulukuta n’omubisi gw’enjuki n’amata.
18 Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde;
    talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe,
19 kubanga yanyigiriza abaavu n’abaleka nga bakaaba,
    yawamba amayumba g’ataazimba.

20 “Ddala ddala talifuna kikkusa mululu gwe,
    wadde okuwonya n’ebyo bye yeeterekera.
21 Tewali kimulekeddwawo ky’anaalya;
    obugagga bwe tebujja kusigalawo.
22 Wakati mu kufuna ebingi okulaba ennaku kumujjira;
    alibonaabonera ddala nnyo.
23 Ng’amaze okujjuza olubuto lwe,
    Katonda alyoke amusumulurire obusungu bwe amukube ebikonde ebitagambika.
24 Bw’alidduka ekyokulwanyisa eky’ekyuma,
    akasaale ak’ekikomo kalimufumita.
25 Akasaale kaliviirayo mu mugongo gwe,
    omumwa gwako ogumasamasa gusikibwe mu kibumba.
Entiisa erimujjira.
26     Ekizikiza ekikutte kye kirindiridde obugagga bwe.
Omuliro ogutazikira gwe gulimumalawo,
    gwokye ebisigadde mu weema ye.
27 Eggulu liryolesa obutali butuukirivu bwe;
    ensi erimusitukirako n’emujeemera.
28 Ebintu by’ennyumba biritwalibwa,
    biribulira ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda.
29 Eyo y’engeri Katonda gy’asasulamu abakozi b’ebibi,
    nga gwe mugabo Katonda gwe yabategekera.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

  Back

1 of 1

You'll get this book and many others when you join Bible Gateway Plus. Learn more

Viewing of
Cross references
Footnotes