A A A A A
Bible Book List

Yobu 26 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Yobu Ayanukula

26 Awo Yobu n’addamu nti,

“Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
    Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!
    Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?
    Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?

“Abafu kye balimu tekigumiikirizika,
    n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;
    n’okuzikiriza tekulina kikubisse.
Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,
    awanika ensi awatali kigiwanirira.
Asiba amazzi mu bire bye;
    ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
Abikka obwenyi bw’omwezi,
    agwanjululizaako ebire bye.
10 Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
    ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
11 Empagi z’eggulu zikankana,
    zeewuunya olw’okunenya kwe.
12 Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,
    n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
13 Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,
    omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.
    Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali!
    Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Job 26 New International Version (NIV)

Job

26 Then Job replied:

“How you have helped the powerless!
    How you have saved the arm that is feeble!
What advice you have offered to one without wisdom!
    And what great insight you have displayed!
Who has helped you utter these words?
    And whose spirit spoke from your mouth?

“The dead are in deep anguish,
    those beneath the waters and all that live in them.
The realm of the dead is naked before God;
    Destruction[a] lies uncovered.
He spreads out the northern skies over empty space;
    he suspends the earth over nothing.
He wraps up the waters in his clouds,
    yet the clouds do not burst under their weight.
He covers the face of the full moon,
    spreading his clouds over it.
10 He marks out the horizon on the face of the waters
    for a boundary between light and darkness.
11 The pillars of the heavens quake,
    aghast at his rebuke.
12 By his power he churned up the sea;
    by his wisdom he cut Rahab to pieces.
13 By his breath the skies became fair;
    his hand pierced the gliding serpent.
14 And these are but the outer fringe of his works;
    how faint the whisper we hear of him!
    Who then can understand the thunder of his power?”

Footnotes:

  1. Job 26:6 Hebrew Abaddon
New International Version (NIV)

Holy Bible, New International Version®, NIV® Copyright ©1973, 1978, 1984, 2011 by Biblica, Inc.® Used by permission. All rights reserved worldwide.

Viewing of
Cross references
Footnotes