Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne,

Read full chapter

Abantu Bayitibwa Okwenenya

12 (A)Mukama kyava agamba nti,
    “Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
    Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”

13 (B)Muyuze emitima gyammwe
    so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
    kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
    n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 (C)Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
    n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
    ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?

Read full chapter