Add parallel Print Page Options

13 (A)“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,
    buli omu alulunkanira kufuna.
Nnabbi ne kabona bonna
    boogera eby’obulimba.

Read full chapter

10 (A)Noolwekyo bakazi baabwe
    ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
    zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
    nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.

Read full chapter

(A)Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa
    era ba nkwe;
bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu,
    era bamenya amateeka.

Read full chapter

10 (A)ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola eby’emizizo byonna?

Read full chapter