Add parallel Print Page Options

(A)Wabula kabaka Zeddekiya n’atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, bamutegeeze nti, “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”

Read full chapter

(A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okunnebuuzako nti, ‘Eggye lya Falaawo erizze okubayambako, lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri.

Read full chapter

25 (A)Awo Zeddekiya nga yakafugira emyaka mwenda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna ne balumba Yerusaalemi ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi; ne basiisira ebweru waakyo, ne bakizimbako ebigo okukyetooloola.

Read full chapter

Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

44 (A)Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
    bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
    mu nnaku ez’edda ezaayita.
(B)Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
    n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
    n’okulaakulanya bajjajjaffe.
(C)Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
    n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
    awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.

(D)Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
    awa Yakobo obuwanguzi.

Read full chapter

17 (A)“Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu n’ensi n’amaanyi go amangi ennyo, n’omukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema.

Read full chapter