Add parallel Print Page Options

10 (A)Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.

11 (B)Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa. 12 (C)Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,

“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,
    eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.
‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
    ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.

Read full chapter