Add parallel Print Page Options

16 (A)Mukama yakutuuma Omuzeyituuni ogubala ennyo,
    oguliko ebibala ebirungi.
Naye ajja kugukumako omuliro
    n’okuwuuma okw’omuyaga ogw’amaanyi,
    amatabi gaagwo gakutuke.

Read full chapter

27 (A)Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”

Read full chapter

10 (A)Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’

Read full chapter

14 (A)Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,
    era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe,
gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)Ndikusindikira abakuzikiriza,
    buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,
era balitema emivule gyo egisinga obulungi
    ne bagisuula mu muliro.

Read full chapter

29 (A)Abakaludaaya abanaalumba ekibuga kino bajja kukikumako omuliro, bakyokye kiggye, n’amayumba gonna abantu mwe bankwasiza obusungu nga bootereza Baali obubaane waggulu ku mayumba era n’okuwaayo ebiweebwayo eby’okunywa eri bakatonda abalala.’ 

Read full chapter

(A)Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n’ennyumba z’abantu, ne bamenya n’ebisenge bya Yerusaalemi.

Read full chapter

11 (A)Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi,
    era abayiyeeko obusungu bwe obungi.
Yakoleeza omuliro mu Sayuuni
    ogwayokya emisingi gyakyo.

Read full chapter

47 (A)Yogera eri ekibira eky’omu bukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukukumako omuliro, era gulizikiriza emiti gyonna, omubisi n’omukalu. Ennimi ez’omuliro tezirizikizibwa, na buli ludda okuva mu bukiikaddyo okutuuka mu bukiikakkono bulyokebwa.

Read full chapter

(A)Ndiweereza omuliro ku Yuda
    ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”

Read full chapter

11 (A)Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni,
    omuliro gwokye emivule gyo.

Read full chapter

(A)Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, n’okubasinza ne babasinza era n’okubaweereza ne babaweereza. Mukama kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ”

Read full chapter

13 (A)Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki ow’oku Nsonda.

Read full chapter

(A)Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro,
    era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu.
Mukama yeerabizza Sayuuni
    embaga ze entukuvu ne ssabbiiti,
era mu busungu bwe obungi
    anyoomye kabaka ne kabona.

Read full chapter

Zabbuli ya Asafu.

79 (A)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
    boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
    ne kifuuka entuumo.
(B)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
    mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
    n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
(C)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
    okwetooloola Yerusaalemi,
    so nga abafudde tewali muntu abaziika.

Read full chapter