Add parallel Print Page Options

(A)Okunakuwala kusinga okuseka,
    kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
(B)Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;
    naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
(C)Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi
    okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.

Read full chapter