Add parallel Print Page Options

13 (A)Abasajja aba Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo eri Mukama.

Read full chapter

34 (A)Balamu n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.”

Read full chapter

24 (A)Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti, “Nyonoonye. Najeemedde ekiragiro kya Mukama era n’ebigambo byo, kubanga natidde abantu ne ŋŋendera ku bigambo byabwe.

Read full chapter

10 (A)Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”

Read full chapter

Zabbuli ya Dawudi.

32 (A)Alina omukisa oyo
    asonyiyiddwa ebyonoono bye
    ekibi ne kiggyibwawo.
(B)Alina omukisa omuntu oyo
    Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
    ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

(C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
    ne nkogga,
    kubanga nasindanga olunaku lwonna.
(D)Wambonerezanga
    emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
    ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.

(E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
    ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
    “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
    n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.

Read full chapter

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.

51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
    ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
    nziggyaako ebyonoono byange byonna.

Read full chapter

(A)Totunuulira bibi byange,
    era osangule ebyonoono byange byonna.

Read full chapter

12 (A)Ebibi byaffe abituggyako
    n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.

Read full chapter

(A)Malayika n’agamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.”

N’agamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo eby’omuwendo.”

Read full chapter

(A)Kubanga laba, ku jjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa, ku jjinja erimu eririna amaaso omusanvu, laba nditeekako ebiwandiiko,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Mu lunaku lumu ndiggyawo ekibi ky’ensi eno.

Read full chapter

13 (A)Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana,
    naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.

Read full chapter

18 (A)Katonda ki omulala ali nga ggwe,
    asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
    abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
    naye asanyukira okusaasira.
19 (B)Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe,
    n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.

Read full chapter

10 (A)“ ‘Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze n’omukazi gw’ayenzeeko banattibwanga.

Read full chapter

17 (A)“Anattanga omuntu naye anattibwanga.

Read full chapter