Add parallel Print Page Options

Ekirooto kya Falaawo

41 (A)Oluvannyuma lw’emyaka ebiri emirambirira, Falaawo n’aloota ng’ayimiridde ku mugga Kiyira; (B)laba mu mugga ne muvaamu ente ennungi ensava musanvu, ne ziriira mu bisaalu. Era laba ente endala embi enkovvu musanvu nazo ne ziva mu mugga, ne ziyimirira wamu na ziri ku lubalama lw’omugga. Ente enkovvu, embi ne zirya ente ennungi ensava. Awo Falaawo n’azuukuka. Ate n’addamu okwebaka n’aloota ekirooto ekirala, laba ebirimba eby’emmere ey’empeke musanvu ebigimu nga biri ku kiti kimu. Era laba oluvannyuma ebirimba ebirala musanvu nga bikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba nabyo ne biddirira. Awo ebirimba biri ebikaze ne bimira ebirimba biri omusanvu ebigimu ebirungi. Falaawo n’azuukuka, laba nga kibadde kirooto.

(C)Awo ku makya Falaawo ne yeeraliikirira; n’atumya ne baleeta abalogo bonna ab’e Misiri, n’abagezigezi baamu bonna; Falaawo n’abategeeza ekirooto kye, kyokka ne watabaawo n’omu eyasobola okukivvuunulira Falaawo.

Awo omusenero wa Falaawo n’agamba Falaawo nti, “Ntegedde nasobya nnyo. 10 (D)Falaawo bwe yasunguwalira abaddu be, nze n’omukulu w’abafumbi n’atuteeka mu kkomera, 11 (E)ekiro kimu omukulu wa bafumbi nange twaloota ebirooto, nga buli kimu kirina amakulu ga njawulo ku kinnaakyo. 12 (F)Mu ffe mwalimu omuvubuka Omwebbulaniya nga muddu wa mukulu w’abambowa; bwe twamutegeeza nannyonnyola buli omu ekirooto kye nga bwe kyali. 13 (G)Nga bwe yatunnyonnyola era bwe kityo bwe kyali; nze nazzibwa ku mulimu gwange, ye omufumbiro, n’awanikibwa ku muti.”

Falaawo ategeeza Yusufu ekirooto kye

14 (H)Awo Falaawo n’atumya baleete Yusufu, ne bamuleeta mangu okumuggya mu kkomera. Bwe yamala okumwebwa omutwe[a] n’okukyusa engoye ze, n’ajja mu maaso ga Falaawo. 15 (I)Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Naloose ekirooto, naye tewali n’omu ayinza kukivvuunula.” 16 (J)Yusufu n’addamu Falaawo nti, “Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo.”

17 Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, bwe nabadde nga nneebase ne ndoota nga nnyimiridde ku lubalama lw’omugga Kiyira; 18 ente ennungi ensava musanvu ne ziva mu mugga ne ziriira mu bisaalu; 19 ate ente endala ennafu embi ennyo enkovvu ze sirabangako mu nsi y’e Misiri nazo ne zijja. 20 Awo ente embi enkovvu ne zirya ente ziri omusanvu ensava ezaasoose, 21 naye bwe zamaze okuzirya nga toyinza na kutegeera nti ziziridde, kubanga nga nkovvu nga bwe zaabadde olubereberye. Awo ne ndyoka nzuukuka.

22 “Ate era mu kirooto kyange nalabye ebirimba ebigimu ebirungi musanvu nga biri ku kiti kimu, 23 n’ebirimba ebirala musanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba, nabyo ne bivaayo. 24 (K)Ebirimba ebikaze ne bimira biri ebigimu. Ebyo nabitegeezezza abagezigezi ne wabulawo n’omu abivvuunula.”

25 (L)Awo Yusufu n’agamba Falaawo nti, “Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda alaze Falaawo ky’agenda okukola. 26 (M)Ente omusanvu ennungi gy’emyaka musanvu n’ebirimba omusanvu ebigimu gy’emyaka musanvu; ekirooto kiri kimu. 27 (N)Ente omusanvu embi enkovvu ezajja oluvannyuma, gy’emyaka musanvu, n’ebirimba omusanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba gy’emyaka omusanvu egy’enjala.

28 “Nga bwe ŋŋambye Falaawo, Katonda alaze Falaawo ekyo ky’agenda okukola. 29 (O)Wajja kubaawo emyaka musanvu egy’ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri, 30 (P)naye oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu egy’enjala eryerabiza ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri; enjala eribuna ensi. 31 Ekyengera tekirimanyika n’akatono olw’enjala empitirivu era embi ennyo, eribuna Misiri yenna. 32 (Q)Ekirooto kya Falaawo kyekivudde kiddiŋŋanwa, kitegeeza nti ekintu Katonda akikakasa era ajja kukituukiriza mangu. 33 (R)Kale kaakano Falaawo alonde omusajja omukalabakalaba era ow’amagezi amuwe obuvunaanyizibwa ku nsi yonna ey’e Misiri. 34 (S)Era asseewo abalabirira balabirire ensi bakuŋŋaanye ekimu ekyokutaano eky’emmere ey’empeke yonna mu nsi ey’e Misiri okumalirako ddala emyaka omusanvu egy’ekyengera. 35 (T)Bakuŋŋaanye emmere eyo mu myaka egijja egy’ekyengera, bazimbe ebyagi ebinene mu buli kibuga bagikuŋŋaanyize omwo olw’ekiragiro kya Falaawo, bagikuume. 36 (U)Emmere eyo eriterekebwa olw’enjala eriba mu nsi okumalako emyaka omusanvu egy’enjala erigwa mu Misiri yonna; ensi ereme okuzikirizibwa enjala.”

Falaawo Afuula Yusufu Omufuzi

37 (V)Ebigambo bya Yusufu ne biwulikika bulungi mu matu ga Falaawo n’ag’abaweereza be bonna. 38 (W)Falaawo n’agamba abaweereza be nti, “Tuyinza okufuna omuntu ng’ono Yusufu omuli Omwoyo wa Katonda?” 39 Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Katonda nga bw’akulaze bino byonna, tewali mulala mukalabakalaba, omugezi okukwenkana ggwe. 40 (X)Gw’onoofuganga olubiri lwange, era abantu bange banaakolanga kyonna ky’onoobalagiranga; wabula nze kabaka n’abanga waggulu wo.” 41 (Y)Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, nkutadde wo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.” 42 (Z)Olwo Falaawo n’alyoka aggya empeta[b] ku ngalo ye n’aginaanika Yusufu, n’amwambaza ekyambalo ekya linena omulungi, n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe. 43 (AA)N’amuwa n’okutambuliranga mu ggaali lye eriddirira mu kitiibwa ng’erya Falaawo mwe yatambuliranga. Bonna ne bavuunama mu maaso ga Yusufu nga bwe bagamba nti, “Muvuuname.” Bw’atyo Falaawo n’amuteekawo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.

44 (AB)Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, naye awatali kigambo kyo tewali muntu aliyimusa mukono gwe newaakubadde ekigere kye mu Misiri.” 45 (AC)Falaawo n’atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n’amuwa Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni okuba mukazi we. Bw’atyo Yusufu n’atambula okubuna Misiri yonna.

Ekirooto kituukirira

46 (AD)Yusufu yali aweza emyaka amakumi asatu bwe yatandika okuweereza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Awo Yusufu n’ava mu maaso ga Falaawo n’agenda n’abuna Misiri yenna. 47 Mu myaka omusanvu egy’ekyengera emmere yabala n’ekamala. 48 Yusufu n’akuŋŋaanya emmere mu Misiri mu myaka omusanvu egy’ekyengera n’agiterekera mu byagi ebinene mu bibuga. Mu buli kibuga n’akuŋŋaanyizamu emmere eyavanga mu nnimiro ezikyetoolodde. 49 Yusufu n’atereka emmere mpitirivu, n’ebanga omusenyu ogw’oku nnyanja, okutuusa lwe yalekeraawo okugipima, nga tekisoboka kugipima.

50 (AE)Omwaka ogw’enjala nga tegunnatuuka Yusufu yafuna abaana aboobulenzi babiri, Asenaasi, muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira. 51 (AF)Omwana eyasooka yamutuuma Manase, kubanga Yusufu yagamba nti, “Katonda anneerabizza obuzibu bwange bwonna, n’ennyumba ya kitange.” 52 (AG)Owookubiri n’amutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti, “Katonda anjazizza mu nsi mwe nabonaabonera.”

53 Awo emyaka omusanvu egy’ekyengera ekyali mu nsi y’e Misiri ne giggwaako. 54 (AH)Emyaka omusanvu egy’enjala ne gitandika nga Yusufu bwe yayogera. Enjala n’egwa n’ebuna mu nsi zonna, kyokka yo mu Misiri nga emmere mweri. 55 (AI)Enjala bwe yagwa mu Misiri, abantu ne bakaabira Falaawo olw’emmere. Falaawo n’agamba Abamisiri nti, “Mugende eri Yusufu; ky’anaabagamba, kye muba mukola.”

56 (AJ)Kale enjala bwe yabuna Misiri, Yusufu n’asumulula ebyagi by’emmere byonna; n’aguza Abamisiri emmere. 57 (AK)Ensi zonna nazo ne zijja e Misiri eri Yusufu okugula emmere; kubanga enjala yayitirira mu nsi zonna.

Footnotes

  1. 41:14 okumwebwa omutwe Abamisiri baamwanga ebirevu n’enviiri, ekintu Abaebbulaniya kye bataakolanga.
  2. 41:42 Empeta zakozesebwanga okukakasa ebiwandiiko ebikulu.

Pharaoh’s Dreams

41 When two full years had passed, Pharaoh had a dream:(A) He was standing by the Nile,(B) when out of the river there came up seven cows, sleek and fat,(C) and they grazed among the reeds.(D) After them, seven other cows, ugly and gaunt, came up out of the Nile and stood beside those on the riverbank. And the cows that were ugly and gaunt ate up the seven sleek, fat cows. Then Pharaoh woke up.(E)

He fell asleep again and had a second dream: Seven heads of grain,(F) healthy and good, were growing on a single stalk. After them, seven other heads of grain sprouted—thin and scorched by the east wind.(G) The thin heads of grain swallowed up the seven healthy, full heads. Then Pharaoh woke up;(H) it had been a dream.

In the morning his mind was troubled,(I) so he sent for all the magicians(J) and wise men of Egypt. Pharaoh told them his dreams, but no one could interpret them for him.(K)

Then the chief cupbearer said to Pharaoh, “Today I am reminded of my shortcomings.(L) 10 Pharaoh was once angry with his servants,(M) and he imprisoned me and the chief baker in the house of the captain of the guard.(N) 11 Each of us had a dream the same night, and each dream had a meaning of its own.(O) 12 Now a young Hebrew(P) was there with us, a servant of the captain of the guard.(Q) We told him our dreams, and he interpreted them for us, giving each man the interpretation of his dream.(R) 13 And things turned out exactly as he interpreted them to us: I was restored to my position, and the other man was impaled.(S)

14 So Pharaoh sent for Joseph, and he was quickly brought from the dungeon.(T) When he had shaved(U) and changed his clothes,(V) he came before Pharaoh.

15 Pharaoh said to Joseph, “I had a dream, and no one can interpret it.(W) But I have heard it said of you that when you hear a dream you can interpret it.”(X)

16 “I cannot do it,” Joseph replied to Pharaoh, “but God will give Pharaoh the answer he desires.”(Y)

17 Then Pharaoh said to Joseph, “In my dream I was standing on the bank of the Nile,(Z) 18 when out of the river there came up seven cows, fat and sleek, and they grazed among the reeds.(AA) 19 After them, seven other cows came up—scrawny and very ugly and lean. I had never seen such ugly cows in all the land of Egypt. 20 The lean, ugly cows ate up the seven fat cows that came up first. 21 But even after they ate them, no one could tell that they had done so; they looked just as ugly as before. Then I woke up.

22 “In my dream I saw seven heads of grain, full and good, growing on a single stalk. 23 After them, seven other heads sprouted—withered and thin and scorched by the east wind. 24 The thin heads of grain swallowed up the seven good heads. I told this to the magicians, but none of them could explain it to me.(AB)

25 Then Joseph said to Pharaoh, “The dreams of Pharaoh are one and the same.(AC) God has revealed to Pharaoh what he is about to do.(AD) 26 The seven good cows(AE) are seven years, and the seven good heads of grain are seven years; it is one and the same dream. 27 The seven lean, ugly cows that came up afterward are seven years, and so are the seven worthless heads of grain scorched by the east wind: They are seven years of famine.(AF)

28 “It is just as I said to Pharaoh: God has shown Pharaoh what he is about to do.(AG) 29 Seven years of great abundance(AH) are coming throughout the land of Egypt, 30 but seven years of famine(AI) will follow them. Then all the abundance in Egypt will be forgotten, and the famine will ravage the land.(AJ) 31 The abundance in the land will not be remembered, because the famine that follows it will be so severe. 32 The reason the dream was given to Pharaoh in two forms is that the matter has been firmly decided(AK) by God, and God will do it soon.(AL)

33 “And now let Pharaoh look for a discerning and wise man(AM) and put him in charge of the land of Egypt.(AN) 34 Let Pharaoh appoint commissioners(AO) over the land to take a fifth(AP) of the harvest of Egypt during the seven years of abundance.(AQ) 35 They should collect all the food of these good years that are coming and store up the grain under the authority of Pharaoh, to be kept in the cities for food.(AR) 36 This food should be held in reserve for the country, to be used during the seven years of famine that will come upon Egypt,(AS) so that the country may not be ruined by the famine.”

37 The plan seemed good to Pharaoh and to all his officials.(AT) 38 So Pharaoh asked them, “Can we find anyone like this man, one in whom is the spirit of God[a]?”(AU)

39 Then Pharaoh said to Joseph, “Since God has made all this known to you,(AV) there is no one so discerning and wise as you.(AW) 40 You shall be in charge of my palace,(AX) and all my people are to submit to your orders.(AY) Only with respect to the throne will I be greater than you.(AZ)

Joseph in Charge of Egypt

41 So Pharaoh said to Joseph, “I hereby put you in charge of the whole land of Egypt.”(BA) 42 Then Pharaoh took his signet ring(BB) from his finger and put it on Joseph’s finger. He dressed him in robes(BC) of fine linen(BD) and put a gold chain around his neck.(BE) 43 He had him ride in a chariot(BF) as his second-in-command,[b](BG) and people shouted before him, “Make way[c]!”(BH) Thus he put him in charge of the whole land of Egypt.(BI)

44 Then Pharaoh said to Joseph, “I am Pharaoh, but without your word no one will lift hand or foot in all Egypt.”(BJ) 45 Pharaoh gave Joseph(BK) the name Zaphenath-Paneah and gave him Asenath daughter of Potiphera, priest(BL) of On,[d](BM) to be his wife.(BN) And Joseph went throughout the land of Egypt.

46 Joseph was thirty years old(BO) when he entered the service(BP) of Pharaoh king of Egypt. And Joseph went out from Pharaoh’s presence and traveled throughout Egypt. 47 During the seven years of abundance(BQ) the land produced plentifully. 48 Joseph collected all the food produced in those seven years of abundance in Egypt and stored it in the cities.(BR) In each city he put the food grown in the fields surrounding it. 49 Joseph stored up huge quantities of grain, like the sand of the sea;(BS) it was so much that he stopped keeping records because it was beyond measure.

50 Before the years of famine came, two sons were born to Joseph by Asenath daughter of Potiphera, priest of On.(BT) 51 Joseph named his firstborn(BU) Manasseh[e](BV) and said, “It is because God has made me forget all my trouble and all my father’s household.” 52 The second son he named Ephraim[f](BW) and said, “It is because God has made me fruitful(BX) in the land of my suffering.”

53 The seven years of abundance in Egypt came to an end, 54 and the seven years of famine(BY) began,(BZ) just as Joseph had said. There was famine in all the other lands, but in the whole land of Egypt there was food. 55 When all Egypt began to feel the famine,(CA) the people cried to Pharaoh for food. Then Pharaoh told all the Egyptians, “Go to Joseph and do what he tells you.”(CB)

56 When the famine had spread over the whole country, Joseph opened all the storehouses and sold grain to the Egyptians,(CC) for the famine(CD) was severe throughout Egypt.(CE) 57 And all the world came to Egypt to buy grain from Joseph,(CF) because the famine was severe everywhere.(CG)

Footnotes

  1. Genesis 41:38 Or of the gods
  2. Genesis 41:43 Or in the chariot of his second-in-command; or in his second chariot
  3. Genesis 41:43 Or Bow down
  4. Genesis 41:45 That is, Heliopolis; also in verse 50
  5. Genesis 41:51 Manasseh sounds like and may be derived from the Hebrew for forget.
  6. Genesis 41:52 Ephraim sounds like the Hebrew for twice fruitful.