Add parallel Print Page Options

Okusimba Eweema ya Mukama

40 Awo Mukama n’agamba Musa nti, (A)“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye kw’olisimbira Eweema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. (B)Essanduuko ey’Endagaano oligiyingiza mu Weema; Essanduuko n’olyoka ogisiikiriza n’eggigi. (C)Oliyingiza emmeeza, n’otegeka bulungi byonna ebigikolerwako. Oliyingiza ekikondo ky’ettaala era n’otegekako ettaala zaakwo n’ozikoleeza. (D)Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky’okwoterezangako obubaane mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, n’ossaawo olutimbe mu mulyango gw’Eweema ya Mukama.

“Ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa olikissa mu maaso g’omulyango ogwa Weema ya Mukama, weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, (E)olyoke oteeke ebbensani wakati wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, mu bbensani oteekemu amazzi. Olikola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama, n’ossaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya.

(F)“Oliddira amafuta ag’okwawula n’ogamansa ku Weema ya Mukama ne byonna ebigirimu, olyoke oyawule Eweema ya Mukama n’ebigirimu byonna, ebeere ntukuvu. 10 (G)Olimansira amafuta ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebikozesebwako byonna, n’oyawula ekyoto, bwe kityo ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo. 11 Era n’ebbensani oligimansirako amafuta, ne kw’etuula, n’ogyawula, n’ogitukuza.

12 (H)“Olireeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’obanaaza n’amazzi, 13 (I)n’oyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu n’omusiigako amafuta n’omwawula, alyoke ampeereze nga kabona. 14 Olireeta ne batabani be n’obambaza ekkanzu ey’obwakabona, 15 (J)n’obasiigako amafuta, nga bwe wasiize ku kitaabwe, balyoke bampeereze nga bakabona: era okusiigibwako amafuta okwo kulibafuula bakabona ebbanga lyonna mu mirembe gyabwe.” 16 Musa bw’atyo n’akola ebyo byonna nga Mukama bwe yamulagira.

17 (K)Awo ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye, mu mwaka ogwokubiri, Eweema ya Mukama n’esimbibwa. 18 Musa n’asimba Eweema ya Mukama; n’ateekateeka ebya wansi mw’etuula, n’ategeka olukangaga lwayo, n’asimba empagi zaayo; 19 n’assaako ekibikka ku Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.

20 (L)N’addira Endagaano, ey’ebipande eby’amayinja okwasalibwa Amateeka Ekkumi, n’agiteeka munda mu Ssanduuko ey’Endagaano, n’assa emisituliro ku Ssanduuko ey’Endagaano, n’assaako kungulu ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira; 21 (M)n’ayingiza Essanduuko ey’Endagaano munda mu Weema ya Mukama, n’atimbawo eggigi, n’asiikiriza Essanduuko ey’Endagaano, nga Mukama bwe yalagira Musa.

22 (N)N’ayingiza emmeeza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’agiteeka ku ludda olw’Obukiikakkono olwa Weema ya Mukama, wabweru w’eggigi, 23 (O)n’assaako emigaati ng’agitegese bulungi awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa. 24 (P)N’assa ekikondo ky’ettaala mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu ku ludda olw’Obukiikaddyo obw’Eweema ya Mukama, okwolekera emmeeza, 25 (Q)n’ategeka ettaala awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.

26 (R)N’ayingiza ekyoto ekya zaabu mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’eggigi, 27 (S)n’ayokerako obubaane obwa kawoowo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 28 (T)N’ateeka olutimbe olw’omu mulyango gw’Eweema ya Mukama mu kifo kyalwo.

29 (U)N’ateeka ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku mulyango gw’Eweema ya Mukama, weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’aweerayo okwo ekiweebwayo ekyokebwa eky’obuwunga, nga Mukama bwe yalagira Musa. 30 (V)N’atereeza ebbensani wakati wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, n’assaamu amazzi ag’okunaaba; 31 Musa ne Alooni ne batabani ba Alooni mwe baanaabiranga engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 32 (W)Buli lwe baayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne buli lwe baasembereranga ekyoto nga banaaba, nga Mukama bwe yalagira Musa.

33 (X)N’akola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’assaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya. Bw’atyo Musa omulimu n’agumaliriza.

Ekitiibwa kya Mukama

34 (Y)Awo ekire ne kibuutikira Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, yonna n’ejjula ekitiibwa kya Mukama. 35 (Z)Musa n’atasobola kuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kubanga ekire kyagibuutikira, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.

36 (AA)Mu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula; 37 naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako. 38 (AB)Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.

Setting Up the Tabernacle

40 Then the Lord said to Moses: “Set up(A) the tabernacle, the tent of meeting,(B) on the first day of the first month.(C) Place the ark(D) of the covenant law in it and shield the ark with the curtain. Bring in the table(E) and set out what belongs on it.(F) Then bring in the lampstand(G) and set up its lamps. Place the gold altar(H) of incense in front of the ark of the covenant law and put the curtain at the entrance to the tabernacle.

“Place the altar(I) of burnt offering in front of the entrance to the tabernacle, the tent of meeting; place the basin(J) between the tent of meeting and the altar and put water in it. Set up the courtyard(K) around it and put the curtain at the entrance to the courtyard.

“Take the anointing oil and anoint(L) the tabernacle and everything in it; consecrate it and all its furnishings,(M) and it will be holy. 10 Then anoint the altar of burnt offering and all its utensils; consecrate(N) the altar, and it will be most holy. 11 Anoint the basin and its stand and consecrate them.

12 “Bring Aaron and his sons to the entrance to the tent of meeting(O) and wash them with water.(P) 13 Then dress Aaron in the sacred garments,(Q) anoint him and consecrate(R) him so he may serve me as priest. 14 Bring his sons and dress them in tunics.(S) 15 Anoint them just as you anointed their father, so they may serve me as priests. Their anointing will be to a priesthood that will continue throughout their generations.(T) 16 Moses did everything just as the Lord commanded(U) him.

17 So the tabernacle(V) was set up on the first day of the first month(W) in the second year. 18 When Moses(X) set up the tabernacle, he put the bases in place, erected the frames,(Y) inserted the crossbars and set up the posts. 19 Then he spread the tent over the tabernacle and put the covering(Z) over the tent, as the Lord commanded(AA) him.

20 He took the tablets of the covenant law(AB) and placed them in the ark,(AC) attached the poles to the ark and put the atonement cover(AD) over it. 21 Then he brought the ark into the tabernacle and hung the shielding curtain(AE) and shielded the ark of the covenant law, as the Lord commanded(AF) him.

22 Moses placed the table(AG) in the tent of meeting on the north side of the tabernacle outside the curtain 23 and set out the bread(AH) on it before the Lord, as the Lord commanded(AI) him.

24 He placed the lampstand(AJ) in the tent of meeting opposite the table on the south side of the tabernacle 25 and set up the lamps(AK) before the Lord, as the Lord commanded(AL) him.

26 Moses placed the gold altar(AM) in the tent of meeting in front of the curtain 27 and burned fragrant incense on it, as the Lord commanded(AN) him.

28 Then he put up the curtain(AO) at the entrance to the tabernacle. 29 He set the altar(AP) of burnt offering near the entrance to the tabernacle, the tent of meeting, and offered on it burnt offerings and grain offerings,(AQ) as the Lord commanded(AR) him.

30 He placed the basin(AS) between the tent of meeting and the altar and put water in it for washing, 31 and Moses and Aaron and his sons used it to wash(AT) their hands and feet. 32 They washed whenever they entered the tent of meeting or approached the altar,(AU) as the Lord commanded(AV) Moses.

33 Then Moses set up the courtyard(AW) around the tabernacle and altar and put up the curtain(AX) at the entrance to the courtyard. And so Moses finished the work.

The Glory of the Lord

34 Then the cloud(AY) covered the tent of meeting, and the glory(AZ) of the Lord filled the tabernacle. 35 Moses could not enter the tent of meeting because the cloud had settled on it, and the glory(BA) of the Lord filled the tabernacle.(BB)

36 In all the travels of the Israelites, whenever the cloud lifted from above the tabernacle, they would set out;(BC) 37 but if the cloud did not lift, they did not set out—until the day it lifted. 38 So the cloud(BD) of the Lord was over the tabernacle by day, and fire was in the cloud by night, in the sight of all the Israelites during all their travels.