Add parallel Print Page Options

17 (A)Sayuuni agolola emikono gye,
    naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
    baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
    ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.

18 (B)Mukama mutuukirivu,
    newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
    mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
    batwalibbwa mu busibe.

19 (C)“Nakoowoola bannange bannyambe,
    naye tebanfaako;
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange
    bazikiririra mu kibuga
nga banoonya ekyokulya
    baddemu amaanyi.

Read full chapter