Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
One verse. Every morning. Get the free Verse of the Day email.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Read Scripture without ads. Try Bible Gateway Plus.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Okubikkulirwa 2  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Efeso

2 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Efeso wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala omusanvu ebya zaabu.

2 (B)Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba. 3 (C)Era ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa.

4 (D)Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. 5 (E)Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. 6 (F)Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa by’Abanikolayiti[a] nga nange bwe mbikyawa.

7 (G)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Sumuna

8 (H)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Sumuna wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma n’azuukira n’aba mulamu, 9 (I)nti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. 10 (J)Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.

11 (K)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Perugamo

12 (L)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’e Perugamo wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri 13 (M)nti, Mmanyi gy’obeera awo awali entebe y’obwakabaka bwa Setaani, kyokka ng’onywezezza erinnya lyange era wasigala n’okukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gy’abeera.

14 (N)Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda. 15 (O)Ate era olinayo n’abakkiririza mu njigiriza y’Abanikolayiti. 16 (P)Noolwekyo weenenye, bw’otookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo n’ekitala eky’omu kamwa kange.

17 (Q)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Suwatira

18 (R)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Suwatira wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ng’ennimi ez’omuliro, n’ebigere ebimasamasa ng’ekikomo ekizigule 19 (S)nti, Mmanyi ebikolwa byo, n’okwagala kwo, n’okukkiriza kwo, n’obutuukirivu bwo, n’okugumiikiriza kwo, era n’ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga ebyasooka.

20 (T)Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. 21 (U)Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. 22 (V)Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. 23 (W)Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri.

24 (X)Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani eby’obuziba ng’enjogera bw’egamba, sigenda kubassaako mugugu mulala. 25 (Y)Wabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja.

26 (Z)Oyo aliwangula era n’oyo alisigala ng’akola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. 27 (AA)‘Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma, n’abayasaayasa ng’ayasaayasa ebibya eby’ebbumba.’ 28 (AB)Era ndimuwa emmunyeenye ey’enkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. 29 (AC)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.

Footnotes

  1. 2:6 Abanikolayiti kyali kibinja ky’abantu mu kkanisa ekyali kisizza ekimu n’abakaafiri abaasinzanga ebifaananyi. Baayigirizanga nti Omwoyo yabakkiriza okusinza ebifaananyi n’okukola ebikolwa eby’obugwagwa

Cross references

  1. 2:1 : a Kub 1:16 b Kub 1:12, 13
  2. 2:2 : a Kub 3:1, 8, 15 b 1Yk 4:1 c 2Ko 11:13
  3. 2:3 : Yk 15:21
  4. 2:4 : Mat 24:12
  5. 2:5 : a nny 16, 22 b Kub 1:20
  6. 2:6 : nny 15
  7. 2:7 : a Mat 11:15 b Lub 2:9 c Luk 23:43
  8. 2:8 : a Kub 1:11 b Kub 1:17 c Kub 1:18
  9. 2:9 : a Yak 2:5 b Kub 3:9 c Mat 4:10
  10. 2:10 : a Kub 3:10 b Dan 1:12, 14 c nny 13
  11. 2:11 : Kub 20:6, 14; 21:8
  12. 2:12 : a Kub 1:11 b Kub 1:16
  13. 2:13 : a Kub 14:12 b nny 9, 24
  14. 2:14 : a nny 20 b 2Pe 2:15 c 1Ko 6:13
  15. 2:15 : nny 6
  16. 2:16 : 2Bs 2:8; Kub 1:16
  17. 2:17 : a Yk 6:49, 50 b Is 62:2 c Kub 19:12
  18. 2:18 : a Kub 1:11 b Kub 1:14, 15
  19. 2:19 : nny 2
  20. 2:20 : 1Bk 16:31; 21:25; 2Bk 9:7
  21. 2:21 : a Bar 2:4 b Kub 9:20
  22. 2:22 : Kub 17:2; 18:9
  23. 2:23 : 1Sa 16:7; Yer 11:20; Bik 1:24; Bar 8:27
  24. 2:24 : Bik 15:28
  25. 2:25 : Kub 3:11
  26. 2:26 : Zab 2:8; Kub 3:21
  27. 2:27 : a Kub 12:5 b Is 30:14; Yer 19:11
  28. 2:28 : Kub 22:16
  29. 2:29 : nny 7
Next
Okubikkulirwa 1
Okubikkulirwa 3
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway