Add parallel Print Page Options

Abantu ba Katonda Baliva mu Mawanga Gonna

56 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Mukolenga obwenkanya era ebituufu,
    kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,
n’obutuukirivu bwange
    bunatera okubikkulibwa.
(B)Alina omukisa omuntu akola ekyo,
    n’omwana w’omuntu akinyweererako.
Akwata ssabbiiti obutagyonoona,
    n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”

(C)Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,
    Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,”
so n’omulaawe okugamba nti,
    “Ndi muti mukalu.”

Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange
    ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,
    ne bakuuma endagaano yange,
(D)amannya gaabwe galijjukirwa
    mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo
    n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Ndibawa erinnya eritaliggwaawo
    ery’emirembe n’emirembe.
(E)N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,
    okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama
era n’okubeera abaweereza be,
    abakwata ssabbiiti
ne batagyonoona
    era ne banyweza endagaano yange,
(F)bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu
    era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.
Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe
    birikkirizibwa ku kyoto kyange.
Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu
    eri amawanga gonna.”
(G)Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
    akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti,
“Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala
    ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”

Katonda Alumiriza Abakulembeze ba Isirayiri Ebibi byabwe

(H)Mukama agamba amawanga amalala okujja
    ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.
10 (I)Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso,
    bonna tebalina magezi,
bonna mbwa
    ezitasobola kuboggola,
zibeera mu kuloota nakugalaamirira
    ezaagala okwebaka obwebasi.
11 (J)Embwa ezirina omululu omuyitirivu
    ezitakkuta.
Basumba abatayinza kutegeera,
    bonna abakyamye mu makubo gaabwe;
    buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
12 (K)Bagambagana nti,
    “Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.
N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,
    oba n’okusingawo.”