Add parallel Print Page Options

(A)Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,
    obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.
Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe
    kyali kibonerezo okuva eri Katonda.

Read full chapter

10 (A)Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta,
    era n’okumuleetera okubonaabona.
Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde,
    era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.

Read full chapter

Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe

31 (A)Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 32 (B)Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 33 (C)balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”

Read full chapter

(A)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
    abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.

Read full chapter

10 (A)Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. 11 Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza.

Read full chapter