Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu
    era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu.
Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali;
    tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.

Read full chapter

11 (A)Kubanga Omulokozi, ye Kristo Mukama waffe azaaliddwa leero mu kibuga kya Dawudi.

Read full chapter

16 (A)“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.

Read full chapter

18 (A)Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.

Read full chapter

29 (A)Bino byonna nabyo biva eri Mukama Katonda ow’Eggye,
    ow’ekitalo mu kuteesa ebigambo,
    asinga amagezi.

Read full chapter

21 (A)Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
    kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.

Read full chapter

(A)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
    Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
    ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
    ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.

Read full chapter

Mukama alikuuma mirembe
    oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.

Read full chapter

12 Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe,
    n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde.

Read full chapter

12 (A)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo,
    obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala.
Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriizi
    era bababuusizebuusize ku mubiri gwe.

Read full chapter