Add parallel Print Page Options

(A)Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda
    n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri.
Katonda bw’agolola omukono gwe
    oyo ayamba, alyesittala,
    n’oyo ayambibwa aligwa
    era bombi balizikiririra wamu.
(B)Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,
“Ng’empologoma bwe wuluguma,
    empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo
era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba
    kiyitibwa awamu okugirumba,
tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe,
    newaakubadde oluyoogaano lwabwe.
Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta,
    okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
(C)Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,
    bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;
alikikuuma, n’akiwonya,
    alikiyitamu n’akirokola.”

Read full chapter