Add parallel Print Page Options

Abalisigalawo ku Isirayiri

20 (A)Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
    n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo[a]
    eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
    omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:20 Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli

24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa.

Read full chapter

11 (A)Balijja nga bakankana
    ng’ebinyonyi ebiva e Misiri,
    era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli.
Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

12 (A)Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli
    nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri,
n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati,
    n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,
n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.

Read full chapter

10 (A)Ndibakomyawo okuva mu Misiri,
    mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli.
Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni
    ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.

Read full chapter

22 (A)Abaana ba Seemu be bano:

Eramu, ne Asuli,[a] ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:22 Asuli ly’erinnya ery’edda erya Busuuli.

    (A)Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi.
N’ebizinga eby’ewala
    biririndirira amateeka ge.

Read full chapter

Oluyimba olw’Okutendereza Mukama

10 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi!
Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu,
    mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.

Read full chapter

12 (A)Leka Mukama bamuwe ekitiibwa
    era balangirire ettendo lye mu bizinga.

Read full chapter

19 (A)“Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli[a], n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani,[b] mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange.

Read full chapter

Footnotes

  1. 66:19 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya
  2. 66:19 Yavani ye Buyonaani