Add parallel Print Page Options

Okukungubagira Abalangira ba Isirayiri

19 (A)Kungubagira abalangira ba Isirayiri, oyogere nti,

“ ‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi,
    mu mpologoma!
Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento,
    n’erabirira abaana baayo.
N’ekuza emu ku baana baayo
    n’efuuka empologoma ey’amaanyi,
n’eyiga okuyigga ebisolo,
    n’okulya abantu.
(B)Amawanga gaawulira ebimufaako,
    n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye,
ne bamusibamu amalobo
    ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.

(C)“ ‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde,
    ne bye yali alindirira nga biyise,
n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala,
    n’egifuula empologoma ey’amaanyi.
(D)N’etambulatambula mu mpologoma,
    kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi,
era n’eyiga okuyigga ensolo,
    n’okulya abantu.
(E)N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi,
    n’ezikiriza n’ebibuga byabwe;
ensi n’abo bonna abaagibeerangamu,
    ne batya olw’okuwuluguma kwayo.
(F)Awo amawanga gonna ne gagirumba,
    okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo,
ne bayanjuluza ekitimba kyabwe,
    ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.
(G)Ne bakozesa amalobo okugisikayo,
    ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma,
ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni;
    n’eteekebwa mu kkomera,
    n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.

10 (H)“ ‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro
    ogwasimbibwa okumpi n’amazzi;
ne gubala ebibala ne bijjula amatabi,
    kubanga waaliwo amazzi mangi.
11 (I)Amatabi gaagwo gaali magumu,
    era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka.
Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu
    okusinga emiti emirala,
ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo,
    n’olw’amatabi gaagwo amangi.
12 (J)Naye gwasigulibwa n’ekiruyi
    ne gusuulibwa wansi;
embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza,
    ebibala byagwo ne biggwaako,
n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala,
    era ne gwokebwa omuliro.
13 (K)Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,
    awakalu awatali mazzi.
14 (L)Omuliro gwava ku limu ku matabi,
    ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo.
Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo
    eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’

Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”

A Lament Over Israel’s Princes

19 “Take up a lament(A) concerning the princes(B) of Israel and say:

“‘What a lioness(C) was your mother
    among the lions!
She lay down among them
    and reared her cubs.(D)
She brought up one of her cubs,
    and he became a strong lion.
He learned to tear the prey
    and he became a man-eater.
The nations heard about him,
    and he was trapped in their pit.
They led him with hooks(E)
    to the land of Egypt.(F)

“‘When she saw her hope unfulfilled,
    her expectation gone,
she took another of her cubs(G)
    and made him a strong lion.(H)
He prowled among the lions,
    for he was now a strong lion.
He learned to tear the prey
    and he became a man-eater.(I)
He broke down[a] their strongholds
    and devastated(J) their towns.
The land and all who were in it
    were terrified by his roaring.
Then the nations(K) came against him,
    those from regions round about.
They spread their net(L) for him,
    and he was trapped in their pit.(M)
With hooks(N) they pulled him into a cage
    and brought him to the king of Babylon.(O)
They put him in prison,
    so his roar(P) was heard no longer
    on the mountains of Israel.(Q)

10 “‘Your mother was like a vine in your vineyard[b](R)
    planted by the water;(S)
it was fruitful and full of branches
    because of abundant water.(T)
11 Its branches were strong,
    fit for a ruler’s scepter.
It towered high
    above the thick foliage,
conspicuous for its height
    and for its many branches.(U)
12 But it was uprooted(V) in fury
    and thrown to the ground.
The east wind(W) made it shrivel,
    it was stripped of its fruit;
its strong branches withered
    and fire consumed them.(X)
13 Now it is planted in the desert,(Y)
    in a dry and thirsty land.(Z)
14 Fire spread from one of its main[c] branches
    and consumed(AA) its fruit.
No strong branch is left on it
    fit for a ruler’s scepter.’(AB)

“This is a lament(AC) and is to be used as a lament.”

Footnotes

  1. Ezekiel 19:7 Targum (see Septuagint); Hebrew He knew
  2. Ezekiel 19:10 Two Hebrew manuscripts; most Hebrew manuscripts your blood
  3. Ezekiel 19:14 Or from under its