Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Welcome to the new Bible Gateway. Take a quick tour and see what’s new.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
One verse. Every morning. Sign up.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Eseza 6  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Moluddekaayi Aweebwa Ekitiibwa

6 (A)Ekiro ekyo Kabaka teyayinza kwebaka; era n’alagira ekitabo eky’ebijjukizo eky’ebigambo ebya buli lunaku, bisomebwe mu maaso ge. 2 Awo ne kisangibwa mu byafaayo nti Moluddekaayi yamanya olukwe lwa Bigusani ne Teresi babiri ku balaawe ba Kabaka abaali bakuuma omulyango nga baali bagezaako okutta Kabaka Akaswero, era nga Moluddekaayi ye yabaloopayo.

3 (B)Kabaka n’abuuza nti, “Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw’ekyo?”

Awo abaweereza ba Kabaka ne baddamu nti, “Tewali kintu kye yali aweereddwa.”

4 Awo Kabaka n’abuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Kamani yali yakayingira mu luggya olw’ebweru olw’oku lubiri lwa Kabaka, nga azze okwogera ne Kabaka ku kigambo eky’okuwanika Moluddekaayi ku kalabba Kamani ke yali amuzimbidde.

5 Amangwago abaweereza ne baddamu nti, “Kamani wuuno waali ayimiridde mu luggya.” Kabaka n’ayogera nti, “Mumukkirize ayingire.”

6 Awo Kamani n’ayingira, Kabaka n’amubuuza nti, “Anaakolebwa ki omusajja Kabaka gw’asanyukira era gw’ayagala okuwa ekitiibwa?” Kamani n’alowooza mu mutima gwe nti, “Ani Kabaka gwe yandisanyukidde okumuwa ekitiibwa okusinga nze?” 7 Kamani n’addamu Kabaka nti, “Omusajja Kabaka gw’asanyukira okumuwa ekitiibwa, 8 (C)bamuleetere ebyambalo Kabaka bye yali ayambaddemu, n’embalaasi Kabaka gye yali yeebagadde atikkirweko engule ey’obwakabaka ku mutwe. 9 (D)Ebyambalo n’embalaasi bikwasibwe omu ku bakungu kabaka basinga okuwa ekitiibwa, n’oluvannyuma omusajja oyo kabaka gw’ayagala okuwa ekitiibwa ayambazibwe ebyambalo ebyo era yeebagale n’embalaasi, era omulangira Kabaka gw’anaalonda amukulembere mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira waggulu nti, ‘Bw’atyo bw’anaakolebwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa!’ ”

10 Awo Kabaka n’alagira Kamani nti, “Yanguwa ofune ebyambalo n’embalaasi nga bw’oyogedde, okolere ddala bw’otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku wankaaki wa Kabaka, ate waleme okubulako n’ekimu ku ebyo byonna by’oyogedde.”

11 (E)Awo Kamani n’addira ebyambalo, n’ayambaza Moluddekaayi, n’amwebagaza ku mbalaasi, era n’amukulembera mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira mu maaso ge nti, “Bw’atyo bw’akoleddwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa.”

12 (F)Oluvannyuma Moluddekaayi n’akomawo ku wankaaki wa Kabaka, naye Kamani n’ayanguwa n’addayo ewuwe, ng’anakuwadde era ng’abisse ku mutwe gwe, 13 (G)n’ategeeza Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebimutuuseeko.

Awo abamuwa amagezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti, “Engeri Moluddekaayi gw’otanulidde okugwa mu maaso ge, nga bw’ava mu ggwanga ly’Abayudaaya, tojja kumusinga, era tolirema kuzikirira mu maaso ge.” 14 (H)Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba Kabaka ne batuuka, ne banguwa okutwala Kamani ku mbaga Eseza gye yali afumbye.

Cross references

  1. 6:1 : a Dan 2:1; 6:18 b Es 2:23; 10:2
  2. 6:3 : Mub 9:13-16
  3. 6:8 : a Lub 41:42; Is 52:1 b 1Bk 1:33
  4. 6:9 : Lub 41:43
  5. 6:11 : Lub 41:42
  6. 6:12 : 2Sa 15:30; Yer 14:3, 4; Mi 3:7
  7. 6:13 : a Es 5:10 b Zab 57:6; Nge 26:27; 28:18
  8. 6:14 : 1Bk 3:15; Es 5:8
Next
Eseza 5
Eseza 7
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway