Add parallel Print Page Options

24 (A)Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,
    ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,

Read full chapter

15 (A)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
    nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
    siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.

Read full chapter

11 (A)Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndibaleetako akabi ke batayinza kuwona; wadde banaankaabirira, sijja kubawuliriza.

Read full chapter

12 (A)Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”

Read full chapter

28 (A)kale balinkoowoola, naye siriyitaba;
    balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.

Read full chapter