Add parallel Print Page Options

15 (A)Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala;
    ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi.
Yava ku Katonda eyamukola,
    n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.
16 (B)Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala
    ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.
17 (C)Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda,
    eri bakatonda be batamanyangako,
    bakatonda abaggya abaali baakatuuka
    bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.
18 (D)Weerabira Olwazi eyakuzaala,
    weerabira Katonda eyakuzaala.

Read full chapter

Isirayiri Batwalibwa mu Buwaŋŋanguse olw’Ekibi

(A)Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala,

Read full chapter

Ebika Ebyava mu buwaŋŋanguse mu Babulooni

(A)Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Read full chapter

16 (A)Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane.

Read full chapter

15 (A)“Temukolanga ndagaano ey’okukolagana n’abatuuze b’omu nsi omwo. Kubanga bwe baliba bagoberera bakatonda baabwe, nga bawaayo ssaddaaka, gamba omu ku bo n’abayita, mulirya ku biweebwayo byabwe ebyo.

Read full chapter