Add parallel Print Page Options

Amateeka g’Ebyobufumbo

24 (A)Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye,

Read full chapter

(A)Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi.

Read full chapter

Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe

(A)Munenye nnyammwe,
    mumunenye,
    kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.
Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,
    n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;

Read full chapter

(A)Newaakubadde nga tuli omusaayi gumu ne baganda baffe, n’abaana baffe baana baabwe, kyatuleetera okuwaliriza batabani baffe ne bawala baffe okubawaayo mu buddu. Abamu ku bawala baffe twali twabawaayo dda mu busibe; kaakano tetusobola kununula bibanja byaffe ebyo kubanga abantu abalala baabitwala awamu n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu.”

Read full chapter

25 (A)Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe.

Read full chapter

30 (A)Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,
    oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,
wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo,
    Mukama Katonda ng’abawaddeyo?

Read full chapter

(A)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Mwatundibwa bwereere
    era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”

Read full chapter