A A A A A
Bible Book List

Ekyamateeka Olwokubiri 24 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Amateeka g’Ebyobufumbo

24 Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, omukazi oyo anaayinzanga okwefunira omusajja omulala n’amufumbirwa. Omusajja ono owookubiri naye bw’anaamukyawanga n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bw’anaafanga; bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka n’omusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga Mukama. Totwalanga kibi mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obutaka bwo obw’enkalakkalira.

Amateeka Agatali Gamu

Omusajja bw’anaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ng’ogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ng’asanyusa mukazi we gw’anaabanga awasizza.

Omuntu bw’awolanga munne n’amusaba omusingo, oba akakalu, tamuggyangako lubengo oba enso ng’omusingo oba akakalu, kubanga mu musingo ng’ogwo, aba atwaliddemu obulamu bwa munne.

Omuntu bw’anaakwatibwanga ng’awamba, obanga atunda Omuyisirayiri munne mu buddu, kale omuwambi anattibwanga. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi wakati mu mmwe.

Bwe wanaagwangawo obulwadde obw’olususu ng’obw’ebigenge, weegenderezanga nnyo, n’ogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde. Ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Miryamu nga muli mu lugendo lwammwe nga muva mu Misiri.

10 Bw’owolanga munno ekintu eky’engeri yonna, toyingiranga mu nnyumba ya munno oyo okunonamu omusingo. 11 Ggwe awoze onaabeeranga wabweru n’olindirira oyo gw’onoobanga owoze, okukuleetera omusingo ogwo. 12 Gw’owoze bw’anaabanga omwavu, ekyambalo ky’anaabanga akuwadde ng’omusingo, tosulanga nakyo. 13 Enjuba bw’eneebanga yaakagwa, onookiddizanga munno oyo alyoke akyebikke ekiro nga yeebase. Bw’atyo anaakwebazanga era kinaabanga kikolwa kya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda wo.

14 Toyiikirizanga mwavu n’omupakasi ali mu kwetaaga, n’olwawo okumusasula empeera ye; ne bw’anaabanga Omuyisirayiri munno oba ow’okubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo. 15 Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.

16 Bakitaabwe b’abaana tebattibwenga nga babalanganga abaana baabwe, n’abaana tebattibwenga nga babalanganga bakitaabwe; buli omu anattibwanga ng’alangibwanga ekibi kye ye yennyini.

17 Bannamawanga b’onoobeeranga nabo, n’abaana bamulekwa, obasaliranga emisango gyabwe n’obwenkanya, era totwalanga kyambalo kya nnamwandu ng’omusingo. 18 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu Misiri, naye Mukama Katonda wo n’akununulayo. Kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.

19 Bw’onookungulanga ebibala mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa mu nnimiro, toddangayo kukikima. Onookirekeranga omunnaggwanga oba omwana omufuuzi oba nnamwandu; bw’atyo Mukama alyoke akuwenga omukisa mu byonna by’onookolanga. 20 Bw’onookubanga emizeeyituuni okuva ku miti gyo, toddangayo ku matabi mulundi gwakubiri okumalirako ddala ebibala ebinaabanga bisigaddeko. Ebyo binaabanga bya bannamawanga, n’abaana bamulekwa ne bannamwandu. 21 Bw’onookungulanga emizabbibu okuva mu nnimiro yo, toddangamu mulundi gwakubiri. Ebibala ebinaabanga bisigaddeko onoobirekeranga bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu. 22 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri; kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

  Back

1 of 1

You'll get this book and many others when you join Bible Gateway Plus. Learn more

Viewing of
Cross references
Footnotes