Add parallel Print Page Options

15 (A)“Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.

Read full chapter

17 (A)Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’

Read full chapter

Abalamuzi

18 (A)Onoolondanga abalamuzi n’abakulembeze mu bantu, mu bika byo byonna, mu bibuga byo byonna, Mukama Katonda wo by’akuwa, baweerezenga abantu nga babasalirawo ensonga zaabwe nga tebasaliriza. 19 (B)Obeeranga n’obwenkanya, era tobanga na kyekubiira ng’osala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’omugezi era ebuzaabuza ebigambo by’abatuukirivu. 20 Ogobereranga bwenkanya bwokka olyoke olye ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

Read full chapter

Embuga Ezinaasalirwangamu Emisango

(A)Bwe wanaabangawo emisango egireeteddwa mu mbuga yo nga mizibu gikukaluubiridde okusala, oba nga gya kuyiwa musaayi, oba gya kuwozaŋŋanya, oba kukubagana, oba ensonga endala zonna ezinaabangamu enkaayana mu bibuga byo, ensonga ezo zonna onoozitwalanga mu kifo Mukama Katonda wo ky’anaabanga yeerondedde. (B)Bw’onootuukanga eyo oneebuuzanga ku bakabona, be Baleevi, ne ku mulamuzi anaabanga akola omulimu ogwo mu kiseera ekyo. Banaakutegeezanga ensala yaabwe. 10 Onookoleranga ku nsala yaabwe eyo gye banaakuwanga mu kifo ekyo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. Weegenderezanga nnyo n’okola ebyo bye banaabanga bakulagidde. 11 (C)Kinaakugwaniranga okukola ng’amateeka ge banaabanga bakunnyonnyodde bwe gagamba, n’ensala yaabwe nga bw’eneebanga gye banaakutegeezanga. Bye banaakutegeezanga tobivangako kulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. 12 (D)Omuntu yenna anaanyoomanga omulamuzi oba kabona eyateekebwawo okuweereza Mukama Katonda wo, omuntu oyo wa kufa. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi mu Isirayiri. 13 (E)Abantu bonna banaabiwuliranga ne batya, ne bataddayo nate kukola bya kyejo.

Read full chapter