Add parallel Print Page Options

(A)Naye abamu ne bakakanyaza emitima gyabwe ne bagaana, ne batandika n’okwogera obubi ku Kkubo mu bibiina. Pawulo n’abaviira, n’atwala abakkiriza, ne bakuŋŋaaniranga mu kisenge ky’essomero lya Tulaano buli lunaku.

Read full chapter

23 (A)Mu kiseera ekyo ne wabaawo akasasamalo ak’amaanyi ku bigambo by’ekkubo.

Read full chapter

(A)Nayigganya abantu b’Ekkubo n’okubatuusa ku kufa, ne nkwata abasajja n’abakazi ne mbasibisa mu kkomera.

Read full chapter

14 (A)Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda n’okumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe n’obulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka g’Ekiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi.

Read full chapter

22 Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n’agamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi w’abaserikale mu Yerusaalemi, bw’alituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”

Read full chapter