Add parallel Print Page Options

Balunabba ne Sawulo batumibwa

13 (A)Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo. (B)Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.” (C)Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.

(D)Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo. (E)Bwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.

(F)Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi ow’obulimba, erinnya lye Balisa. (G)Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi ow’oku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja w’amagezi, n’atumya Balunabba ne Sawulo ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. (H)Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu g’erinnya lye mu Luyonaani), n’abeekiikamu, n’agezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo eby’okukkiriza. (I)Naye Sawulo, era ng’ayitibwa Pawulo, n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira Eruma enkaliriza, 10 (J)n’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu? 11 (K)Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.”

Amangwago olufu n’ekizikiza ne bimusaanikira, n’atandika okuwammanta ng’anoonya anaamukwata ku mukono. 12 (L)Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, n’akkiriza, era n’awuniikirira nnyo olw’okuyigiriza kw’ekigambo kya Mukama.

Balunabba ne Pawulo mu Antiyokiya eky’e Pisidiya

13 (M)Awo Pawulo ne be yali nabo ne basaabala ku nnyanja okuva e Pafo ne bagoba e Peruga eky’e Panfuliya. Naye Yokaana Makko n’abalekayo n’addayo e Yerusaalemi. 14 (N)Kyokka Balunabba ne Pawulo ne beeyongerayo mu lugendo lwabwe ne batuuka mu kibuga Antiyokiya ekiri mu Pisidiya. Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti ne bagenda ne batuula mu kkuŋŋaaniro. 15 (O)Ebitundu ebyaggyibwa mu Mateeka ne mu Bannabbi bwe byaggwa okusomebwa, abakulembeze b’ekuŋŋaaniro ne batumira Balunabba ne Pawulo we baali batudde nga bagamba nti, “Abasajja abooluganda, obanga ku mmwe waliwo alina ekigambo ekizimba abantu akyogere.”

16 (P)Awo Pawulo n’ayimuka, n’abawenya n’ayogera nti, “Abasajja Abayisirayiri, nammwe abatya Katonda, muwulirize! 17 (Q)Katonda w’eggwanga lino Isirayiri yalonda bajjajjaffe n’abafuula eggwanga ekkulu bwe baali abagenyi mu nsi y’e Misiri n’oluvannyuma n’abaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi, 18 (R)n’abagumiikiriza okumala emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu. 19 (S)N’azikiriza amawanga musanvu agaabeeranga mu nsi ya Kanani, era ensi eyo n’agiwa Abayisirayiri okubeera omugabo gwabwe, 20 (T)okumala emyaka ng’ebikumi bina mu ataano.

“Oluvannyuma n’abalondera abalamuzi okubafuganga okutuusa mu biro bya nnabbi Samwiri. 21 (U)Awo abantu ne basaba bafugibwe kabaka. Katonda n’abawa Sawulo mutabani wa Kiisi, ow’omu kika kya Benyamini, n’afugira emyaka amakumi ana. 22 (V)Naye Katonda n’amuggya ku bwakabaka, n’abuwa Dawudi, oyo Katonda gwe yayogerako obulungi nti, ‘Nnonze Dawudi, mutabani wa Yese, omusajja omutima gwange gwe gwagala ajja okukola bye njagala.’

23 (W)“Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri. 24 Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okw’okwenenya. 25 Era Yokaana bwe yali ng’ali kumpi okufundikira omulimu gwe, yagamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Laba Ye ajja oluvannyuma lwange, n’okusaanira sisaanira na kusumulula ngatto ze.’

26 (X)“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu. 27 (Y)Ababeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino. 28 (Z)Tebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte. 29 (AA)Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana. 30 (AB)Naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu. 31 (AC)Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.

32 “Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe 33 yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti,

“ ‘Mwana wange,
    leero nfuuse Kitaawo.’

34 (AD)Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:

“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’

35 (AE)Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti,

“ ‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’

36 (AF)“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda. 37 Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.

38 (AG)“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa. 39 (AH)Buli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu. 40 Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:

41 (AI)“ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi,
    musamaalirire era muzikirire!
Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera,
    gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu
    ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’ ”

42 (AJ)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo. 43 (AK)Abayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.

44 Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga n’ajja okuwulira ekigambo kya Katonda. 45 (AL)Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga. 46 (AM)Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. 47 (AN)Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti,

“ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga,
    olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”

48 Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.

49 Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. 50 (AO)Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe. 51 (AP)Abatume ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya. 52 Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.