Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Read Scripture without ads. Study with fewer distractions with Bible Gateway Plus.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Verse of the Day by email. Sign up free.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Ebikolwa by’Abatume 23  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

23 (A)Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.” 2 (B)Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa. 3 (C)Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?”

4 Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bw’otyo bw’oyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?”

5 (D)Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”

6 (E)Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!” 7 Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, 8 (F)kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.

9 (G)Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?” 10 (H)Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.

11 (I)Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.”

Olukwe Okutta Pawulo

12 (J)Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo! 13 Omuwendo gw’abantu abaali mu lukwe luno gwasinga ku makumi ana. 14 (K)Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n’abakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo. 15 (L)Noolwekyo mugambe omuduumizi w’abaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.”

16 (M)Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo n’agenda mu nkambi y’abaserikale n’ategeeza Pawulo.

17 Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.” 18 (N)Omuserikale n’atwala omulenzi eri omuduumizi waabwe n’amugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise n’antuma ndeete omulenzi ono gy’oli ng’alina ky’ayagala okukutegeeza.”

19 Omuduumizi w’abaserikale n’akwata omulenzi ku mukono n’amuzza wabbali n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala okuntegeeza?”

20 (O)Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako. 21 (P)Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.”

22 Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.”

Pawulo Atwalibwa e Kayisaliya

23 (Q)Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu. 24 (R)Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”

25 Awo n’awandiikira gavana ebbaluwa eno nti:

26 (S)Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi.

27 (T)Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi. 28 (U)Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze. 29 (V)Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera. 30 (W)Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.

31 Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli. 32 (X)Enkeera ekibinja eky’oku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe. 33 (Y)Abaserikale ab’omu kibinja eky’oku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana n’ebbaluwa ne bagiwaayo. 34 (Z)Gavana bwe yamala okugisoma, n’abuuza Pawulo essaza mw’ava. Pawulo n’addamu nti, “Nva mu Kirukiya.” 35 (AA)Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.

Cross references

  1. 23:1 : a Bik 22:30 b Bik 22:5 c Bik 24:16; 1Ko 4:4; 2Ko 1:12; 2Ti 1:3; Beb 13:18
  2. 23:2 : a Bik 24:1 b Yk 18:22
  3. 23:3 : a Mat 23:27 b Lv 19:15; Ma 25:1, 2; Yk 7:51
  4. 23:5 : Kuv 22:28
  5. 23:6 : a Bik 22:5 b Bik 26:5; Baf 3:5 c Bik 24:15, 21; 26:8
  6. 23:8 : Mat 22:23
  7. 23:9 : a Mak 2:16 b nny 29; Bik 25:25; 26:31 c Bik 22:7, 17, 18
  8. 23:10 : Bik 21:34
  9. 23:11 : a Bik 18:9 b Bik 19:21; 28:23
  10. 23:12 : nny 14, 21, 30; Bik 25:3
  11. 23:14 : nny 12
  12. 23:15 : nny 1; Bik 22:30
  13. 23:16 : nny 10; Bik 21:34
  14. 23:18 : Bef 3:1
  15. 23:20 : a nny 1 b nny 14, 15
  16. 23:21 : a nny 13 b nny 12, 14
  17. 23:23 : a Bik 8:40 b nny 33
  18. 23:24 : nny 26, 33; Bik 24:1-3, 10; 25:14
  19. 23:26 : a Luk 1:3; Bik 24:3; 26:25 b Bik 15:23
  20. 23:27 : a Bik 21:32 b Bik 21:33 c Bik 22:25-29
  21. 23:28 : Bik 22:30
  22. 23:29 : a Bik 18:15; 25:19 b nny 9; Bik 26:31
  23. 23:30 : a nny 20, 21 b Bik 20:3 c Bik 20:35; 24:19; 25:16
  24. 23:32 : a nny 23 b Bik 21:34
  25. 23:33 : a nny 23, 24 b Bik 8:40 c Bik 8:26
  26. 23:34 : Bik 6:9; 21:39
  27. 23:35 : a nny 30; Bik 24:19; 25:16 b Bik 24:27
Next
Ebikolwa by’Abatume 22
Ebikolwa by’Abatume 24
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway