Add parallel Print Page Options

10 (A)Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.

11 (B)Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi, 12 naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

Read full chapter

25 (A)Kabona anaatangiririranga ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, era bwe batyo banaasonyiyibwanga; kubanga baasobya mu butagenderera, ate banaabanga baleese ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa ku muliro, era n’ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’ekibi olw’ekisobyo kyabwe ekitaali kigenderere.

Read full chapter