Add parallel Print Page Options

21 Akisoferi n’addamu nti, “Weebake n’abakyala ba kitaawo be yalekawo okulabirira olubiri. Isirayiri yenna bwe banaawulira ng’ofuuse ekyenyinyalwa eri kitaawo, banaddamu amaanyi.” 22 (A)Awo ne basimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba ne yeebaka n’abakyala ba kitaawe, nga Isirayiri yenna balaba.

Read full chapter

(A)Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali[a] muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo. (B)N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri.

10 (C)Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro. 11 Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola,

Read full chapter

Footnotes

  1. 21:8 Mikali ebiwandiiko ebimu bigamba Merabu