Add parallel Print Page Options

17 (A)Kyeyava aweereza kabaka w’Abakaludaaya okubalumba, n’atta n’ekitala abavubuka baabwe mu nnyumba awasinzizibwa, n’atalekaawo muvubuka n’omu newaakubadde abawala abato, newaakubadde abasajja abakulu wadde abakadde ennyo. Bonna Katonda yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza.

Read full chapter

62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
    n’asunguwalira omugabo gwe.
63 (A)Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
    ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.

Read full chapter

11 (A)Kyenva nzijula ekiruyi
    sikyasobola kukizibiikiriza.

“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,
    ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;
abaami awamu n’abakazi n’abakadde
    abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.

Read full chapter

14 (A)Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”

Read full chapter

43 (A)“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
    n’otutta awatali kutusaasira.

Read full chapter

(A)Kubanga sikyaddayo kukwatirwa bantu ba nsi eno kisa,” bw’ayogera Mukama. “Ndiwaayo buli muntu okugwa mu mikono gya muliraanwa we, ne mu mikono gya kabaka we. Nabo balijooga ensi era sirigiwonya kuva mu mikono gwabwe.”

Read full chapter