Add parallel Print Page Options

Okujeema kwa Mowaabu

(A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obwakabaka bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, Yekolaamu mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri e Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri. (B)Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyatuuka ku bibi bya kitaawe ne nnyina. Yazikiriza n’empagi eya Baali kitaawe gye yali asimbye. (C)Newaakubadde ng’ekyo yakikola, teyalekayo kukola ebibi ng’ebyo Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola, n’ayonoonyesa Isirayiri.

(D)Mesa Kabaka wa Mowaabu yalundanga endiga, era yalina omutemwa ogw’okuwangayo abaana b’endiga emitwalo kkumi, n’ebyoya by’endiga ennume emitwalo kkumi eri Akabu. (E)Naye Akabu olwafa, kabaka wa Mowaabu n’atandika okujeemera kabaka wa Isirayiri. Awo mu biro ebyo kabaka Yekolaamu n’asitula okuva e Samaliya, n’akunga Isirayiri yenna okugenda naye. (F)N’atumira ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde, onooyinza okumbeera tumulwanyise?”

Yekosafaati n’amuddamu nti, “Nnaagenda naawe, kubanga nze ndi nga bw’oli, era abantu bange be bantu bo, n’embalaasi zange ze zizo.”

Yekosafaati n’amubuuza nti, “Ye, tunaalumba kuva ku luuyi ki?” Yekolaamu n’amuddamu nti, “Tunaayita mu ddungu erya Edomu.” (G)Awo kabaka wa Isirayiri, n’asitukira wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu[a] ne bagenda mu lutalo. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu, n’oluvannyuma ne beesanga ng’eggye amazzi galiweddeko, nga n’ebisolo byabwe tebirina wadde ettondo. 10 Kabaka wa Isirayiri ne yeekanga nnyo. N’ayogera nti, “Zitusanze! Ffenna abasatu, Mukama atuwaddeyo mu mukono gwa Mowaabu?” 11 (H)Kyokka Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama tumwebuuzeeko?” Awo omu ku bakungu ba kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Wano waliwo Erisa mutabani wa Safati. Ye yali omuweereza wa Eriya ow’oku mwanjo.” 12 (I)Yekosafaati n’ayogera nti, “Alina ekigambo okuva eri Mukama.” Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda, awamu ne kabaka wa Isirayiri, ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy’ali.

13 Awo Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Onnanga ki? Genda eri bannabbi ba kitaawo n’aba maama wo.” Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Nedda sijja kugendayo; kubanga kirabika nga Mukama atukuŋŋaanyiza ffensatule, okutuwaayo mu mukono gwa Mowaabu.”

14 Erisa n’ayogera nti, “Nga Mukama Katonda Ayinzabyonna gwe mpeereza bw’ali omulamu, singa nnali siwa Yekosafaati kabaka wa Yuda kitiibwa, sandikukubyeko munye ya liiso wadde okukusaako omwoyo. 15 (J)Naye kaakano, mundeetere omukubi w’ennanga.” Omukubi w’ennanga bwe yali ng’akyakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gakka ku Erisa, 16 n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Musime ensalosalo mu kiwonvu kino.’ 17 (K)Mukama agamba nti, ‘Temuulabe mbuyaga wadde enkuba, naye ekiwonvu kino kijja kujjula amazzi, era mmwe munaanywa, n’ente zammwe zinaanywa, n’ebisolo byammwe ebirala nabyo binywe. 18 (L)Eyo nsonga nnyangu mu maaso ga Mukama, era n’Abamowaabu mujja kubawangula. 19 Mulizikiriza buli kibuga ekyetooloddwa bbugwe na buli kibuga ekikulu, era mulitema buli muti omulungi, ne muziyiza n’enzizi okuleeta amazzi, era ne mwonoona buli nnimiro nga mugijjuza amayinja.’ ”

20 (M)Awo obudde bwe bwakya, mu kiseera eky’okuweerayo ssaddaaka, amazzi ne gakulukuta nga gava ku luuyi olwa Edomu, ensi n’ejjula amazzi.

21 Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka babalumbye okulwana nabo, buli musajja, omuto n’omukulu abaali basobola okwambala ebyokulwanyisa, ne bayitibwa okugenda okutabaala. 22 Enkeera enjuba bwe yayaka ku mazzi, Abamowaabu ne balowooza nti amazzi mamyufu kubanga gaabalabikira ng’omusaayi. 23 Ne bagamba nti, “Guno musaayi! Kirabika nga bakabaka baalwanye bokka ne bokka, ne battiŋŋana, kale Mowaabu mugwe ku munyago.”

24 Naye Abamowaabu bwe baali nga baakayingira mu nkambi y’Abayisirayiri, amangwago Abayisirayiri ne batandika okulwana nabo, okutuusa Abamowaabu lwe badduka. 25 (N)Ne bamenyaamenya ebibuga by’Abamowaabu, ne bakanyuga amayinja ku buli kibanja ekirungi okutuusa lwe gaakolangako entuumo; ne baziba enzizi zonna ez’amazzi, ne batema na buli muti omulungi. Kirukalesesi kye kifo kyokka ekyali kitalumbiddwa, naye oluvannyuma abasajja ab’envuumuulo ne bakirumba.

26 Awo kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumugendedde bubi, n’atwala abasajja ab’ebitala lusanvu, ne bagenda naye okulumba kabaka wa Edomu, kyokka ne balemelerwa. 27 (O)N’addira mutabani we omuggulanda, eyali ateekwa okumusikira, n’amuweerayo ku bbugwe w’ekibuga ng’ekiweebwayo ekyokebwa. Abayisirayiri ne beesisiwala nnyo ne beetamwa, era ne baddayo mu nsi yaabwe.

Footnotes

  1. 3:9 Eky’amazima kiri nti kabaka wa Edomu yali nga gavana, kubanga yali alondeddwa Kabaka Yekosafaati (8:20; 1Bk 22:48).

Moab Revolts

Joram[a](A) son of Ahab became king of Israel in Samaria in the eighteenth year of Jehoshaphat king of Judah, and he reigned twelve years. He did evil(B) in the eyes of the Lord, but not as his father(C) and mother had done. He got rid of the sacred stone(D) of Baal that his father had made. Nevertheless he clung to the sins(E) of Jeroboam son of Nebat, which he had caused Israel to commit; he did not turn away from them.

Now Mesha king of Moab(F) raised sheep, and he had to pay the king of Israel a tribute of a hundred thousand lambs(G) and the wool of a hundred thousand rams. But after Ahab died, the king of Moab rebelled(H) against the king of Israel. So at that time King Joram set out from Samaria and mobilized all Israel. He also sent this message to Jehoshaphat king of Judah: “The king of Moab has rebelled against me. Will you go with me to fight(I) against Moab?”

“I will go with you,” he replied. “I am as you are, my people as your people, my horses as your horses.”

“By what route shall we attack?” he asked.

“Through the Desert of Edom,” he answered.

So the king of Israel set out with the king of Judah and the king of Edom.(J) After a roundabout march of seven days, the army had no more water for themselves or for the animals with them.

10 “What!” exclaimed the king of Israel. “Has the Lord called us three kings together only to deliver us into the hands of Moab?”

11 But Jehoshaphat asked, “Is there no prophet of the Lord here, through whom we may inquire(K) of the Lord?”

An officer of the king of Israel answered, “Elisha(L) son of Shaphat is here. He used to pour water on the hands of Elijah.[b](M)

12 Jehoshaphat said, “The word(N) of the Lord is with him.” So the king of Israel and Jehoshaphat and the king of Edom went down to him.

13 Elisha said to the king of Israel, “Why do you want to involve me? Go to the prophets of your father and the prophets of your mother.”

“No,” the king of Israel answered, “because it was the Lord who called us three kings together to deliver us into the hands of Moab.”

14 Elisha said, “As surely as the Lord Almighty lives, whom I serve, if I did not have respect for the presence of Jehoshaphat king of Judah, I would not pay any attention to you. 15 But now bring me a harpist.”(O)

While the harpist was playing, the hand(P) of the Lord came on Elisha 16 and he said, “This is what the Lord says: I will fill this valley with pools of water. 17 For this is what the Lord says: You will see neither wind nor rain, yet this valley will be filled with water,(Q) and you, your cattle and your other animals will drink. 18 This is an easy(R) thing in the eyes of the Lord; he will also deliver Moab into your hands. 19 You will overthrow every fortified city and every major town. You will cut down every good tree, stop up all the springs, and ruin every good field with stones.”

20 The next morning, about the time(S) for offering the sacrifice, there it was—water flowing from the direction of Edom! And the land was filled with water.(T)

21 Now all the Moabites had heard that the kings had come to fight against them; so every man, young and old, who could bear arms was called up and stationed on the border. 22 When they got up early in the morning, the sun was shining on the water. To the Moabites across the way, the water looked red—like blood. 23 “That’s blood!” they said. “Those kings must have fought and slaughtered each other. Now to the plunder, Moab!”

24 But when the Moabites came to the camp of Israel, the Israelites rose up and fought them until they fled. And the Israelites invaded the land and slaughtered the Moabites. 25 They destroyed the towns, and each man threw a stone on every good field until it was covered. They stopped up all the springs and cut down every good tree. Only Kir Hareseth(U) was left with its stones in place, but men armed with slings surrounded it and attacked it.

26 When the king of Moab saw that the battle had gone against him, he took with him seven hundred swordsmen to break through to the king of Edom, but they failed. 27 Then he took his firstborn(V) son, who was to succeed him as king, and offered him as a sacrifice on the city wall. The fury against Israel was great; they withdrew and returned to their own land.

Footnotes

  1. 2 Kings 3:1 Hebrew Jehoram, a variant of Joram; also in verse 6
  2. 2 Kings 3:11 That is, he was Elijah’s personal servant.