A A A A A
Bible Book List

1 Samwiri 22:9 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu n’abaserikale ba Sawulo n’ayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ng’agenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

1 Samwiri 22:22 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

22 Awo Dawudi n’agamba Abiyasaali nti, “Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga ddala alibuulira Sawulo. Omusango gwange kubanga nze naleetera ennyumba ya kitaawo yonna okuttibwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

1 Samwiri 14:47 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

47 Awo Sawulo bwe yalya obwakabaka bwa Isirayiri n’alwana n’abalabe be ku njuyi zonna: Mowaabu, n’Abamoni, ab’e Edomu, ne bakabaka ba Zoba, n’Abafirisuuti, na buli we yaddanga n’abawangula.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Zabbuli 52 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”

52 Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
    Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
    Olulimi lwo lwogi nga kkirita
    era buli kiseera lwogera bya bulimba.
Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
    n’okulimba okusinga okwogera amazima.
Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
    Ggwe olulimi kalimbira!

Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
    alikusikula, akuggye mu maka go;
    alikugoba mu nsi y’abalamu.
Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
    Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
“Mumulabe omusajja
    ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
    ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni
    ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo
    emirembe n’emirembe.
Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.
    Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;
    era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

  Back

1 of 1

You'll get this book and many others when you join Bible Gateway Plus. Learn more

Viewing of
Cross references
Footnotes