Add parallel Print Page Options

Ebika Ebirala ebya Yuda

(A)Bazzukulu ba Yuda abalala baali

Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.

Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.

Ne bano, be baali baganda ba Etamu,

ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi. (B)Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa.

Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.

(C)Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.

Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.

Keera n’amuzaalira

Zeresi, ne Izukali, ne Esumani ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.

Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.” 10 Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.

11 Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni. 12 Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.

13 (D)Batabani ba Kenazi baali

Osuniyeri ne Seraya.

Batabani ba Osuniyeri baali

Kasasi ne Myonosaayi. 14 Myonosaayi n’azaala Ofula.

Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.

15 Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali

Iru, ne Era ne Naamu.

Ne Era n’azaala

Kenazi.

16 Batabani ba Yekalereri baali

Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri.

17 (E)Batabani ba Ezula baali

Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni.

Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa. 18 (F)Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza.

Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.

19 (G)Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu

era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.

20 Batabani ba Simoni baali

Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi.

N’ab’ennyumba ya Isi baali

Zokesi ne Benizokesi.

21 (H)Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali

Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya,

22 Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda). 23 Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.

Ekika kya Simyoni

24 (I)Batabani ba Simyoni baali

Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli.

25 Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.

26 Mutabani wa Misuma yali

Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi.

27 Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda. 28 (J)Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali, 29 (K)ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi, 30 (L)ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi, 31 (M)ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka. 32 (N)Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano, 33 n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali.

Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo by’obujjajjabwe.

34 Mesobabu, ne Yamulaki,

ne Yosa mutabani wa Amonya; 35 ne Yoweeri,

ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri.

36 Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya,

ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,

37 ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.

38 Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe.

Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo. 39 (O)Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe. 40 (P)Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.

41 (Q)Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe. 42 (R)Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi. 43 (S)Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.