Add parallel Print Page Options

Enteekateeka y’Okuzimba Yeekaalu

(A)Awo Kiramu kabaka w’e Ttuulo bwe yawulira nga Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka, ng’asikidde kitaawe Dawudi, n’atuma ababaka be eri Sulemaani, kubanga yali mukwano gwa Dawudi.

Read full chapter

11 (A)Kabaka Sulemaani yagabira Kiramu kabaka w’e Ttuulo ebibuga amakumi abiri, olw’emivule, n’emiberosi ne zaabu bye yaweereza Sulemaani. 12 Naye Kiramu bwe yava e Ttuulo n’agenda okulambula ebibuga Sulemaani bye yamugabira, ne bitamusanyusa. 13 (B)N’amubuuza nti, “Bino bibuga bya ngeri ki by’ompadde muganda wange?” N’abituuma erinnya Kabuli, era bwe biyitibwa n’okutuusa olunaku lwa leero. 14 Kiramu yali aweerezza kabaka ttani nnya eza zaabu.

Read full chapter

Obunnabbi Obukwata ku Tuulo

23 (A)Obunnabbi obukwata ku Tuulo:

Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi,
    kubanga Tuulo kizikirizibbwa
    ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera.
Ekigambo kyababikulirwa
    okuva mu nsi ya Kittimu.

Musirike mmwe ab’oku kizinga
    nammwe abasuubuzi b’e Sidoni
    abagaggawalidde ku nnyanja.
(B)Ku nnyanja ennene
    kwajjirako ensigo za Sikoli,
n’ebyamakungula bya Kiyira bye byali amagoba ga Tuulo,
    era yafuuka akatale k’amawanga.

(C)Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo ky’ennyanja,
    kubanga ennyanja eyogedde nti:
“Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako.
    Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.”
Ekigambo bwe kirijja eri Misiri,
    balinakuwalira ebigambo ebiva e Tuulo.

Muwunguke mugende e Talusiisi,
    mukube ebiwoobe mmwe abantu ab’oku kizinga.
(D)Kino kye kibuga kyammwe eky’amasanyu,
    ekibuga ekikadde,
ekyagenda okusenga
    mu nsi eyeewala?
Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo,
    Tuulo ekitikkira engule,
ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira,
    ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi?
(E)Mukama Katonda ow’Eggye yakiteekateeka,
    amuggyemu amalala n’ekitiibwa kyonna,
    akkakkanye n’abo bonna abamanyifu ku nsi.

10 Ne bw’otambula ku lukalu lwonna olw’omugga Kiyira,
    tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi.
11 (F)Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja,
    n’akankanya obwakabaka bwayo.
Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani
    nti ebigo byakyo birizikirizibwa.
12 (G)Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate,
    ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa.
Yambuka osomoke ogende e Kittimu,
    naye nayo tolifunirayo kuwummula.”

13 (H)Laba ensi ey’Abakaludaaya
    abantu abo abatakyaliwo.
Omwasuli agifudde
    ekifo ekibeeramu ensolo ez’omu ddungu.
Baayimusa eminaala gyabwe,
    ne bamenya ebigo byabwe,
    era n’abazikiriza.

14 Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi,
    ekigo kyo kizikiriziddwa.

15 (I)Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gy’emyaka kabaka gy’awangaala. Naye oluvannyuma lw’emyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ng’ekiri mu luyimba olw’omwenzi.

16 “Kwata ennanga, otambulire mu kibuga,
    ggwe omwenzi eyeerabiddwa.
Ennanga gikube bulungi,
    oyimbe ennyimba nnyingi olyoke ojjukirwe.”

17 (J)Oluvannyuma lw’emyaka ensanvu, Mukama alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogw’obwamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi. 18 (K)Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya Mukama, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa by’ayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi.

Read full chapter

22 (A)bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja;

Read full chapter

(A)“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago.

Read full chapter

21 (A)“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe.

Read full chapter