Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Study Bibles + commentaries + Scripture = deeper understanding. Explore Bible Gateway Plus.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
New Bible Gateway. Take the quick tour.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

1 Ebyomumirembe 4  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ebika Ebirala ebya Yuda

4 (A)Bazzukulu ba Yuda abalala baali

Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.

2 Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.

3 Ne bano, be baali baganda ba Etamu,

ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi. 4 (B)Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa.

Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.

5 (C)Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.

6 Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.

7 Keera n’amuzaalira

Zeresi, ne Izukali, ne Esumani 8 ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.

9 Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.” 10 Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.

11 Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni. 12 Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.

13 (D)Batabani ba Kenazi baali

Osuniyeri ne Seraya.

Batabani ba Osuniyeri baali

Kasasi ne Myonosaayi. 14 Myonosaayi n’azaala Ofula.

Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.

15 Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali

Iru, ne Era ne Naamu.

Ne Era n’azaala

Kenazi.

16 Batabani ba Yekalereri baali

Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri.

17 (E)Batabani ba Ezula baali

Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni.

Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa. 18 (F)Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza.

Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.

19 (G)Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu

era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.

20 Batabani ba Simoni baali

Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi.

N’ab’ennyumba ya Isi baali

Zokesi ne Benizokesi.

21 (H)Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali

Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya,

22 Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda). 23 Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.

Ekika kya Simyoni

24 (I)Batabani ba Simyoni baali

Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli.

25 Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.

26 Mutabani wa Misuma yali

Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi.

27 Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda. 28 (J)Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali, 29 (K)ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi, 30 (L)ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi, 31 (M)ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka. 32 (N)Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano, 33 n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali.

Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo by’obujjajjabwe.

34 Mesobabu, ne Yamulaki,

ne Yosa mutabani wa Amonya; 35 ne Yoweeri,

ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri.

36 Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya,

ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,

37 ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.

38 Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe.

Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo. 39 (O)Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe. 40 (P)Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.

41 (Q)Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe. 42 (R)Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi. 43 (S)Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.

Cross references

  1. 4:1 : a Lub 29:35; 46:12; 1By 2:3 b Kbl 26:21
  2. 4:4 : a 1By 2:50 b Lus 1:19
  3. 4:5 : 1By 2:24
  4. 4:13 : Yos 15:17
  5. 4:17 : Kuv 15:20
  6. 4:18 : Yos 15:34
  7. 4:19 : a Yos 15:44 b Ma 3:14
  8. 4:21 : Lub 38:5
  9. 4:24 : a Lub 29:33 b Kbl 26:12
  10. 4:28 : a Lub 21:14 b Yos 15:26
  11. 4:29 : Yos 15:29
  12. 4:30 : Kbl 14:45
  13. 4:31 : Yos 15:36
  14. 4:32 : a Kbl 34:11 b Yos 15:42
  15. 4:39 : Yos 15:58
  16. 4:40 : Bal 18:7-10
  17. 4:41 : 2By 20:1; 26:7
  18. 4:42 : Lub 14:6
  19. 4:43 : 1Sa 15:8; 30:17; 2Sa 8:12; Es 3:1; 9:16
Next
1 Ebyomumirembe 3
1 Ebyomumirembe 5
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway