1 Ebyomumirembe 20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Labba Kiwambibwa
20 (A)Awo mu biro, bakabaka mwe bagenderanga okulwana, Yowaabu n’akulembera eggye, n’azisa ensi y’abaana ba Amoni, ate era n’azingiza Labba. Naye Dawudi ye n’asigala mu Yerusaalemi, Yowaabu ye n’alumba Labba, n’akizikiriza. 2 Awo Dawudi n’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agitikka ku mutwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga ekyo. 3 (B)Yatwala abantu abaali mu kibuga ekyo n’abawa emirimu nga bakozesa n’emisumeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi. Bw’atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni, oluvannyuma ye n’eggye lye lyonna ne baddayo e Yerusaalemi.
4 (C)Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebyo ne wabalukawo entalo n’Abafirisuuti e Gezeri. Mu kiseera ekyo Sibbekayi Omukusasi n’atta Sippayi omu ku bazzukulu b’agasajja aganene ddala, era ne bawangula Abafirisuuti.
5 (D)Mu lutalo olulala n’Abafirisuuti, Erukanani mutabani wa Yayiri n’atta Lakani muganda wa Goliyaasi Omugitti, eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.
6 Mu lutalo olulala olwali e Gaasi, waaliwo omusajja omuwanvu ennyo eyali omu ku bazzukulu b’agasajja aganene, ng’alina engalo mukaaga ku buli mukono, n’obugere mukaaga ku buli kigere. 7 Yasoomooza nnyo Isirayiri, era Yonasaani mutabani wa Simeeyi, muganda wa Dawudi n’amutta.
8 Abo bonna baali bazzukulu ba lisajja Laafa ow’e Gaasi, era bonna ne bagwa mu mikono gya Dawudi n’abasajja be.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.