Add parallel Print Page Options

17 (A)Awo Erisa n’asaba ng’agamba nti, “Ayi Mukama, zibula amaaso ge asobole okulaba.” Amangwago Mukama n’azibula amaaso ag’omuweereza, laba ng’ensozi zijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro nga geetoolodde Erisa.

Read full chapter

17 (A)Mukama ava ku lusozi Sinaayi
    nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
    n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.

Read full chapter

    (A)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
    ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.

Read full chapter

(A)Afuula empewo ababaka be,
    n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.

Read full chapter

15 (A)“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
    era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
    era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.

Read full chapter

(A)Ayi Mukama, wanyiigira emigga?
    Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
    bwe weebagala embalaasi zo,
    n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?

Read full chapter

Okwolesebwa kw’Amagaali Ana

(A)Ne nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali g’embalaasi ana nga gava wakati w’ensozi bbiri, n’ensozi ezo zaali nsozi za bikomo.

Read full chapter

24 (A)Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.

Read full chapter

Okutwalibwa kwa Eriya mu Ggulu

(A)Awo Mukama bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali,

Read full chapter